Ab’amasomero bawabuddwa ku ky’okuweereza abasomesa abatalina biboogerako okukima ebigezo ku (Stations) ez’enjawulo gye bikuumibwa okwewala okubiwa abayinza okubibulankanya.
Omu ku bavunaanyizibwa ku kugaba ebigezo ku poliisi y’e Mukono, Gordon Katimbo ategeezezza nga kino bwe kitaataaganyizza omulimu gwabwe ku mulundi guno era nti basanze akaseera akazibu okubakakasa.
Omu Ku Bakulu B'amasomero Ng'asitudde Ensawo Erimu Ebigezo.
Bano oluvannyuma lw’okwenyonyonyolako baweereddwa abaserikale okubalondoola, katimbo n’akalaatira abakulira amasomero okuweereza abasomesa abalina ebisaanyizo nga bwe baalambikibwa ekitongole kya UNEB kisobozese n’abayizi okutandika ebigezo byabwe mu budde.
“Abasomesa abeesanze mu mbeera eno tetubawadde bigezo okutuusa nga tuzuudde nti ddala basomesa, tubakubira omulanga ab’amasomero nti abasomesa naddala abapya bwe muba mubawadde emirimu, mubawe endagamuntu ezikakasa nti bakozi bammwe okwewala okutataaganyizibwa.”Katimbo bw'agambye.
Katimbo Nga Yeetegereza Id Y'omu Ku Basomesa Abaakimye Ebigezo.
Amyuka alondoola ebigezo mu munisipaali eno, Henry Sserubiri asomedde ab’amasomero amateeka ag’okugoberera okwewala ensonga y’okusazaamu ebigezo byabwe.
Mu gano mwe muli okulaba nga ebifo byonna abayizi mwe bakolera ebigezo birina abagenda okukuuma, okussaayo ennyo omwoyo ng’ebigezo by’abayizi bye bamaze okukola byonna bisibibwa bulungi n’okubituusa mu budde bitwalibwe n’amateeka amalala.
Bo abasomesa bategeezezza nga bwe wakyaliwo obwetaavu okwongera okubangulwa mu nsoma empya kibasobozese okwongera okugikugukamu obulungi.