EKITONGOLE ekivunaanyizibwa ku bigezo mu ggwanga ekya Uganda National Examinations Board (UNEB) kiraze engeri empya abaamasomero ze bakozesa okubba ebigezo ne kirabula abasuubira okwenyigira mu muze guno omwaka guno nti bubakeeredde.
Mu bukodyo buno obupya, mulimu amasomero okuwandiisa abayizi nga babataddeko nti balina obulemu kyokka nga tebabulina nga kino bakikola n’ekigendererwa eky’okubongeramu eddakiika 45 eziwebwa abaliko obulemu ekintu eky’obulabe era ekirabibwa nga kubba bigezo okuwedde emirimu. Bino byayogeddwa akulira UNEB,
Dan Odongo bwe yabadde mu lukungana n’abalambula amasomero okuva mu disitulikiti ez’enjawulo wamu ne mu bibuga olwa buli mwaka okumanya okusoomoozebwa kwe basisinkana mu mirimu gyabwe ate n’engeri gye basobola
okutangiramu okubba ebigezo mu masomero.
Odongo yagambye nti bazudde amasomero mangi ng’abayizi babawandiisiddwa ng’abaliko obulemu kyokka bwe basindika abakugu baabwe okwekkaanya abaana bano ne basanga nga balamu katebule ekintu kye yavumiridde.
Yategeezezza nti enkola endala ezigenda okwetegerezebwa ennyo abantu ze babbiramu ebigezo z’ez’oku mutimbagano n’agamba nti ku luno bagenda kukozesa abakugu abawerako era anaagezaako okukikola ajja kukwatibwa.
Olukungaana luno lwetabiddwako ne minisita omubeezi ow’ebyenjigiriza ebisookerwako Dr. Moriku Joyce Kaducu nga yakubirizza abalambula amasomero
okubeera abasaale mu kukuuma ebigezo kubanga omutindo gwabyo bwegufa eggwanga lyonna liba lifiiriddwa.
Ku ky’abasomesa abali mu kwekalakaasa Kaducu yabasabye okudda mu bibiina basomese abaana b’eggwanga n’agamba nti mu kiseera kino Gavumenti eri mu kuteekateeka mbalirira ya mwaka gujja eya 2026-2027 nga balina okwanja ensonga zaabwe mu bulambulukufu eri abakugu abali mu nteekateeka eno olwo ssente zaabwe ziteekebwe mu mbalirira eyo.
Akulira eby’ebigezo mu UNEB Mike Masikye Nangosya yasabye abagenda okutambuza ebigezo okubitwala mu masomero obutabirekera
ba boodabooda wabula
nabo babeereko okwewala okubbibwa.