OLUSOMA lwa ttaamu eyookusatu lutandise kimpoowooze ku masomero mangi olw’omuwendo gw’abayizi omutono.
Bwe kwegasseeko akeediimo k’abasomesa mu masomero agamu ne gujabagira era kyatiisizza abazadde abamu. Kyokka Gavumenti yagumizza abasomesa ba Arts babeere bagumu kuba nsonga y’okubongeza emisaala gyabwe erowoozebwako.
BUKEDDE abayizi be yayogeddeko nabo nga bakyali waka baagambye nti, basuubira kutandika wiiki ejja, ng’obuzibu buva ku butaba na ffiizi n’ebyetaago ebirala.
E Mukono, abazadde tebajjumbidde kuzzaayo baana era Stella Nakintu omuzadde ku ssomero lya Mukono Kings School yategeezezza nti, fiizi z’abaana babiri zikyamubuze ate nga n’ebyetaago byonna babyagalirawo.
Okusoomoozebwa kwe bayitamu kwe kuba ng’amasomero gasaba ebyetaago buli ttaamu omuli; enjeyo, Ream z’empapula n’ebirala nga ne ffiizi bazaagala wamu tebakwata bitundu.
Ku ssomero lya Bishop’s SS, akakiiko k’essomero bakkirizza abazadde okusasulako ffiizi ebitundu 75 ku 100 kisobozese abayizi okutandikirawo naddala abo abagenda okutuula ebigezo eby’akamalirizo, okusinziira ku amyuka omukuluw’essomero Martin Lule.
Ku Mityana Public Primary School erya UPE ery’abayizi 1,340, abayizi 432 bokka be baatandikiddewo era omukulu w’essomero Hajjati Aidah Nagadya yagambye nti abazadde baagaanye okuweereza abayizi nga bamanyi abasomesa bagenda kwekalakaasa.
Kyokka mu masomero ag’obwannannyini agamu abayizi baatandikiddewo nga aba Preparatory School e Buloba abayizi ebitundu 90 ku 100 bwe bazze ku lunaku olusooka, okusinziira ku Dayirekita w’essomero Liz Vivian.
Amasomero mangi mu Kampala BUKEDDE ge yatuuseemu nga Mengo SS, Kitebi SS, Lubiri SS abasomesa baasangiddwa basomesa nga tebali mu bya kwekalakaasa.
Omukulu w’essomero lya Kibuli SSS, Hajji Ibrahim Ssemakadde yagambye nti, ewuwe abasomesa bonna baatandikiddewo okusomesa naye nga takakasa nga n’emyoyo weegiri.
E Mayuge, omubaka wa Pulezidenti Lt. Hajji Ramathan Walugembe yasabye abasomesa okubeera n’ekisa eri abaana b’eggwanga kuba ttaamu gye tulina ye y’okuyita. Yasabye abazadde okusindika abaana ku masomero baleme kwekwasa bya kwekalakaasa.
Atwala ebyenjigiriza mu disitulikiti y’e Mayuge, David Ziija yagambye nti, bagenda kutuuza olukiiko olw’amangu n’abakulu b’amasomero babeegayirire baddeyo basomese.
Ssentebe w’ekibiina ekigatta abasomesa ekya UNATU, Filbert Baguma yagambye nti, tewali ngeri musomesa gy’asobola kudda mu kibiina asomese nga tasobola kutwala mwana we ku ssomero olw’ebbula lya ssente.
Kyokka minisita omubeezi avunaanyizibwa ku byenjigiriza ebya waggulu, Dr. JC Muyingo yasabye abasomesa okubeera abagumiikiriza balumirirwe abaana b’eggwanga baddeyo basomese ng’ensonga zaabwe bwe zikolwako kuba Gavumenti ezimanyi bulungi era nneetegefu okuzikolako.