Abazigu batemudde ssentebe w'ekyalo omulambo ne bagusuula kumpi ne Klezia

Abatuuze e Bukomansimbi baguddemu ekyekango abatemu abatannategeerekeka bwe bakkakanye ku ssentebe waabwe ne bamutta

Abazigu batemudde ssentebe w'ekyalo omulambo ne bagusuula kumpi ne Klezia
By Phiona Nanyomo
Journalists @New Vision
#Amawulire

Abatuuze ku kyalo Mbaale A mu Town Council y’e Kagologolo mu disitulikiti y’e Bukomansimbi baguddemu ekyekango abatemu abatannategeerekeka bwe bakkakanye ku ssentebe waabwe ne bamutta mu bukambwe n'oluvannyuma omulambo gwe ne bagusula ku Eklezia.

Omugenzi bw'abadde afaanana.

Omugenzi bw'abadde afaanana.

Attiddwa ye Sabbiti Kibirango 72, nga ono abadde ssentebe w'ekyalo Mbaale era omusuubuzi omututumufu.

Kigambibwa nti yattiddwa mu kiro ekyakeesezza egggulo ku Lwokubiri oluvannyuma lwa bantu abatannategeerekeka okumukubira essimu ku Easter Monday akawungeezi nga bamuyita wabula teyakomawo.

Poliisi ng'ereese embwa yaayo enkozi y'olusu.

Poliisi ng'ereese embwa yaayo enkozi y'olusu.

Okusinziira ku batuuze, ku Monday akawungenzi ku ssaawa 1:00, Omugenzi baamulabako mu sitenseni ye Kagologolo ng’ali ku ppikippiki ye bulijjo kw’atambulira era n’akyama ku dduuka erimu okugulawo obutunda n'ekindaazi asobole okufuna eky’okusiibulukirako.

Wabula, oluvannyuma yafuna essimu eyamukubirwa bw’atyo n’asitukirawo ng’akutte erindaazi lye n’agenda okusisinkana eyali amukubidde wabula bwatuuka ku nkya nga takomyewo.

Ku makya abatuuze baakedde kulaba ppikippiki ye nga yasuze mu kasitenseni ekintu ky’atakolangako ekyabawalirizza n'abakulembeze okutandika okumukubira amasimu nga tagakwata ne kyaddiridde kutandika muyiggo gwa kumunoonya buli we babadde bamusuubira n’ababula.

Poliisi n'aboobuyinza nga baliko bye boogera.

Poliisi n'aboobuyinza nga baliko bye boogera.

Ku ssaawa nga 11:00 ez’akawungeezi k'eggulo omulambo gwa Kibirango gwalabiddwa omukadde Resty Nansubuga eyabadde agenze okunoonyeza embiziz e ebyokulya nga bagusudde mu kimwanyi emabega wa Klezia y’e Kagologolo naye eyakubye enduulu eyasombodde abatuuze okutuukawo nga ku mulambo gwa Kibirango kwe bakuba amaaso.

Baatemezza ku bakulira ebyokwerinda nga bakulembeddwa RDC Jane Frances Kagayi ,omumyuka we Fred Kalema ne  poliisi y'e Bukomansimbi nabo abaasitukiddemu okutuuka mu kifo kino awagudde ekikangabwa kino.

Abatuuze nga bakung'aanye okwetegereza ekikangabwa ekyaguddewo.

Abatuuze nga bakung'aanye okwetegereza ekikangabwa ekyaguddewo.

Zulaika Nalubega, omu ku bakyala ba Kibirango yagambye nti yakoma okulaba bba ku Lwokuna lwa wiiki ewedde era n’agenda mukyalo ewaabwe okulya olunaku n’akomawo enkeera ku Mmande.

Yagambye nti teyategeddeko nti bba mwali mu sitenseni wabula yalabidde awo kumakya  nga abaana bajja okumubuuza oba Kitaabwe yasuze wuwe. Abamu ku batuuze bategeezezza nti ssentebe Kibirango abadde alina abantu be yawola ssente nga tebannamusasula nga kiteeberezebwa okuba nti kwandiba nga obuzibu kwe bawavudde.

Abalala  kino bakitadde ku bavubuka abasusse okukozesa ebiragalalagala ne basaba abeebyokwerinda okwongeramu amaanyi mu kukola ebikwekweto okufufugazza abamenyi b'amateeka be bagamba nti basusse mu kitundu kyabwe.

 

RDC wa Bukomansimbi, Jane Frances Kagayi n'omuyuka we Fred Kalema pax nabo batuuseko mu kifo ewattiddwa Kibirango ne bagumya abatuuze n'abeng’anda z'omugenzi nga bwe bagenda okukola ekisoboka okuzuula abatemu era bavunaanibwe.

Oluvannyuma poliisi ereese embwa okuva e Ssembabule wabula nga mpawo ky’ezudde n'ekiddiridde kuggyawo mulambo ne gutwalibwa mu ggwanika mu ddwaaliro ekkulu e Masaka okwongera okwekebeggyebwa nga n'okunoonyereza bwe kugenda mu maaso.