Abazigu basse omusajja mu ntiisa omulambo gwe bagusuula okumpi n'enkota y'ettooke

Abatuuze ku kyalo Namusujja ekisangibwa mu ggombolola y'e Bukulula baguddemu ensisi bwe basanze munnaabwe ng'attiddwa mu ntiisa

Abazigu basse omusajja mu ntiisa omulambo gwe bagusuula okumpi n'enkota y'ettooke
By Ssennabulya Baagalayina ne JohnBosco Sseruwu
Journalists @New Vision
#Amawulire

Abatuuze ku kyalo Namusujja mu muluka gw'e Kitti mu ggombolola y'e Bukulula mu Kalungu baguddemu ensisi bwe basanze munnaabwe ng'attiddwa mu ntiisa omulambo ne gulekebwa mu kitaba ky'omusaayi nga guliraanye enkota y’ettooke.

Abatuuze nga beetegereza omulambo.

Abatuuze nga beetegereza omulambo.

Poliisi mu Kalungu eri mu kuyigga abantu abagambibwa okutwalira amateeka mu ngalo ne batta Abdallah Kibirige 40, mu bukambwe okubadde okumutemaatema jjambiya ezaamukutudde n’okugulu.

Ffamire tematidde na ngeri gye basing'aanyeemu mulambo gwa Kibirige ogwabadde mu kitaba ky’omusaayi nga gulina n’ebiwundu by'ebiso ebiwerako.

Abamu ku baffamire y'omugenzi Kibirige nga basobeddwa. (Ekif. kya Ssennabulya Baagalayina).

Abamu ku baffamire y'omugenzi Kibirige nga basobeddwa. (Ekif. kya Ssennabulya Baagalayina).

Bano nga bakulembeddwa ssengaabwe, Aidah Nanfuka, Muhamood Kasujja, Muzamiru Kasujja, Saalongo Muhamood Kalule n'abalala balumirizza nti  abatemu abasse omuntu waabwe baakikoze mu bugenderevu.

Baayongeddeko nti abatemu baatemye n'ettooke etto ku mugogo mu nnimiro y'omugagga Abas Katongole olwo ne baliteeka okumpi n'omulambo gwa Kibirige  okulowoozesa abalala nti bamulanze bubbi bwa mmere.

Omugogo ogwatemeddwaako ettooke.

Omugogo ogwatemeddwaako ettooke.

Akulira Poliisi y'e Lukaya etwala n'ey’e Lusango, ASP Vianney Birungi ategeezezza nti ettemu lyabadde ku kyalo Namusujja mu muluka gw'e Kitti mu ggombolola y'e Bukulula mu Kalungu.

Agamba nti batumyeyo abasirikale okwekkaanya embeera n'okukung’aanya obujulizi bwonna nga bwe bayigga n'abaabwenyigiddemu.

Ettooke etto lye baasanze okumpi n'omulambo.

Ettooke etto lye baasanze okumpi n'omulambo.

Ssentebe wa LCIII e Bukulula, Sulaiman Bazadde Kaweesi n'aba LCI ey’e Kitti Umaru Kayizzi n'owe Namusujja Emmanuel Mayiga baatuseewo ne bavumirira eky'okutwalira amateeka mu ngalo.

Abapoliisi beekebezze omulambo n'ekifo kyonna okuli n'omugogo mu kibanja ky'omugagga Katongole ogwatemeddwako ettooke eryateekeddwa okumpi n'omulambo gwa Kibirige.

Ssentebe wa LCI e Kitti n'abatuuze abalala nga beekanze olw'engeri omugenzi gye yattiddwamu.ah Kibirige

Ssentebe wa LCI e Kitti n'abatuuze abalala nga beekanze olw'engeri omugenzi gye yattiddwamu.ah Kibirige

Baggyeewo omulambo ne bagwongerayo mu ddwaliro e Masaka gwekebejjebwe abasawo. Wabula, abaffamire bakalambidde obutawaayo mafuta ga Poliisi okubatambuza omulambo gwekebeggyebwe alipoota ne bagisindika ew'omugagga.

Poliisi nga yekkaanya omugogo mu nnimiro y'omugagga Abas Katongole eri kyalo Namusujja mu muluka gw'e Kitti e Bukulula mu Kalungu

Poliisi nga yekkaanya omugogo mu nnimiro y'omugagga Abas Katongole eri kyalo Namusujja mu muluka gw'e Kitti e Bukulula mu Kalungu

Bassentebe beekokodde ebikolwa by'obubbi ebicaase mu kitundu ne bakissa ku bavubuka abataagala kukola. Kyokka tebawagidde kikolwa kya kutwalira mateeka mu ngalo era ne bakkiriziganya n'abatuuze nti Poliisi ennoonyereze mu bwenkanya ng'ekwata abasse Kibirige era nabo bavunaanibwe mu mateeka.

Abaffamire y’omugenzi basabye obwenkanya ne bategeeza nti omuntu waabwe waakiri bandimukwatidde mu bubbi naye n'atattibwa mu ngeri eyo.