AKULIRA eby'enjigiriza mu Disitulikiti y'e Wakiso Fredrick Kiyingi Kinobe, asabye abazadde okwongera amaanyi mu kugunjula abaana okwewala ebizibu ebiyinza okubatuukako ate ekisobola okufiiriza abayizi obulamu bw'omumaaso.
Kinobe bino yabyogeredde ku mukolo gw'amasomero ga Gayaza nga bajaguza emyaka 119 mu nsiike y'ebyenjigiriza ogwategekeddwa ku ssomero lya Gayaza Junior School e Gayaza mu Wakiso n'ategeeza nti abazadde be baviiriddeko enneyisa y'abaana mu nsi ennungi n'enkyamu.

Omuyizi ng'akanika
Yategeezezza nti abazadde abasinga essira baliteeka ku kuleetera baana byakulya ku ssomero kyokka ne beerabira okubagunjula mu by'ensi.
Yasabye abazadde okukomya omuze gw'okukyusakyusa amannya g'abaana naddala ku ago ge batandise nago mu bibiina bya wansi, yagambye nti kino nabo ng'abatwala eby'enjigiriza kibakaluubiriza okugakyusa ku mitendera gy'omumaaso.
Muhammad Kasule eyabadde omugenyi omukulu era nga ye yakiikiridde omuwandiisi w'enkalakkalira mu Minisitule y'ebyenjigiriza yeebazizza amasomero ga Gayaza okuteeka essira ku by'emikono ekiggyayo butereevu eby'ensoma empya Gavumenti by'etaddeko omulaka.
Yagambye nti abaana abawala okusinziira ku bibalo, batono abamalako eky'omusanvu n'okutuuka mu ssiniya ey'okuna naye ng'ebizibu biva ku bafuna embuto nga bato, obutabanguko mu maka, ekibaviirako okuva mu ssomero wabula yasabye abazadde okuyamba ku baana okuvvuunuka bino.
Yasabye abayizi nabo okunywerera ku biruubirirwa byabwe ate okutuuka ku buwanguzi.
Sarah Kizito omukulu w'essomero lya Gayaza Junior School yategeezezza nti olunaku luno lukuzibwa buli mwaka abaasomerako ku ssomero lino okulambula ku bakyasoma okubawa essuubi nti nabo basobola ate n'obutenyooma.

Omuyizi ng'annyonnyola
Kizito agamba nti okusomesa abayizi by'emikono bakikola okubawa eby'okulondako ebiwera nga bakula kubanga wabaawa abatali balungi mu bitabo kyokka nga mu by'emikono beeriisa nkuuli, bw'atyo n'asaba abazadde obutakugira baana na ki kye baba balonzeeko wabula okukibaagazisa n'okubayambako.
Yakubirizza abazadde okwagala abaana, okubasembeza, okuwuliriziganya nabo okumanya kye baagala okwewala entalo mu maka ate n'okukuuma abaana ku bannakigwanyizi abeesomye okukomya obulamu bwabwe obw'omumaaso.
Okusaba kwakulembeddwamu Bsp. Eria Paul Luzinda Kizito eyasabye abayizi bulijjo obuteemalirira n'obuteerowozaako bokka oluusi ekivaako okulya enguzi.
Oluvannyuma abayizi baayolesezza eby'emikono bye bakola okuli okukanika emmotoka, okulunda, okuluka, okutunga n'ebirala ebyacamudde abazadde.