AKULIRA abalambuzi b’amasomero mu Wakiso, Prim Ritah Nannyanzi asabye abazadde okusiga obuntubulamu mu miti emito singa eggwanga lyakufuna abantu ab’enkya abanaasobola okuziyiziza ebikolobero mu nsi eno.
Nannyanzi yaategeezezza nti ebikolwa ng’okutta abantu, okulya enguzi ebifuuse ssaanya mu ggwanga okusinga bivudde kuba ng’abantu baggwamu obuntubulamua ekizigamizza empisa n’obuwangwa bwa Uganda.
Abaana nga boolesea obuwangwa obw'enjawulo
Yabyogeredde Jjungo ku ssomero lya Gayaza Primary abayizi nga boolesa ebitone nga bayita mu by’obuwangwa ku mulamwa nti ‘Obuntubulamu butandika nange’. Yasabye abayizi obutasoosowaza mikutu migattabantu egifumbekeddeko emize egitta ekitiibwa kyabwe era n’akubiriza abazadde okugyewaza abasomi.
Yasabye abazadde okuyigiriza abaana eby’obukulembeze, okubaagazisa eby’obuwangwa kyokka n’asaba abasomesa obutakuumira baana baliko bulemu mabega wabula nabo okuweebwa omwagaanya okwolesa ebitone byabwe.
Obuwangwa obw'enjawulo
Rev. Can. Agustine Musiwufu Magala, naye yasabye abazadde okuyigiriza abaana ennimi ennansi n’akubiriza abayizi okubeera n’amazima, kino yabakuutidde okwesiga Katonda singa baakutuuka ku buwanguzi mu bulamu bwabwe.
Omukulu w’essomero lino, Sarah Tebugulwa Kizito, yategeezezza nti ennyimba n’emizannyo biyamba okuggula obwongo bw’abaana ne busaza kimu era n’akubiriza abazadde obutakotoggera bitone bya mabujje. Yagambye nti kiyambako ne mu nkwatagana y’abaana ekireetawo obumu.
Okusogola omubisi
Abayizi baavuganyizza mu nsi zaabwe okugeza Zambia, Angola, Ghana ne Algeria mu nnyimba z’obwangwa n’amazina kwossa emizannyo egyacamudde abazadde okukakkana nga Ghana enywedde mu zinnaazo akendo n’esitukira mu kikopo.