Amawulire

Abazadde bakubiriziddwa okuyamba abaana okukuza ebitone byabwe

OMUBAKA wa pulezidenti owa disitulikiti ye  Kapchorwa  Stanley Bayole asabye abazadde abasomesa n'abantu bonna okufaayo ennyo ku mbeera z'abaana naddala okusoma, eby'obulamu, ebyendya,ensula n'okubatangira ebikolwa ebityobola  eddembe lyabwe.

Dr.Nandy ng'abuza ku bayizi abawangudde emisinde gy'abalenzi
By: Nsimbi Ponsiano, Journalist @New Vision

OMUBAKA wa pulezidenti owa disitulikiti ye  Kapchorwa  Stanley Bayole asabye abazadde abasomesa n'abantu bonna okufaayo ennyo ku mbeera z'abaana naddala okusoma, eby'obulamu, ebyendya,ensula n'okubatangira ebikolwa ebityobola  eddembe lyabwe.

RDC Bayole ng'azina ne Dr.Nandy akulira Unicef mu Uganda

RDC Bayole ng'azina ne Dr.Nandy akulira Unicef mu Uganda

Bino abyogeredde ku kisaawe kya Boma e Kapchorwa ku mukolo abaana okuva mu masomero ag'enjawulo mu disitulikiti okuli Kween, Bukwo ne Kapchworwa mwebetabidde mu misinde mukuggulawo  ebikujjuko by'okukuza olunaku lwa baana munsi yonna olubeerawo buli November 20.

Ng'omwaka guno emikulo emikulu gigenda kubeera mu disitulikiti ye Kapchorwa mu Sebei.

Bayole agamba nti abaana bangi batulugunyizibwa ssaako okutyobola eddembe lyabwe okuli ery'okusoma, okugemwa, okukomoola abakyala n'ebirala ngasabye buli muntu okusitukiramu okukomya ebikolwa bino.

Ebikujjuko bino biwomeddwa omutwe ekitongole ky'ensi yonna ekivunaanyizibwa ku baana ekya United Nations Children’s Fund (UNICEF).

Ono avumiridde ebikolwa byokutyobola eddembe ly'abaana ebyesigamizibwa ku buwangwa n'enzikiriza byagamba nti birina okukomezebwa.

Abasinze mu misinde gy'abawala

Abasinze mu misinde gy'abawala

Agamba buvunaanyizibwa bwa bazadde okulabirira abaana baabwe mumbeera zonna era kimenya mateeka obutabutukiriza.

Ono alaze okwenyamora olw'omuwendo gw'abaana abatayaya ku nguudo ogweyongera mu bibuga ebyenjawulo byagamba nti bivudde ku bazadde n'embeera zebayisamu abaana baabwe.

Alabudde abantu bonna abenyigira mu bikolwa byokutyobola eddembe ly'abaana nabo abakwasiza amateeka ab'ekobana n'abatyobola eddembe ly'abaana nga bwatagenda ku batira ku liiso.

Ye akulira UNICEF mu Uganda   Dr.Robin Nandy asabye abazadde, abasomesa n'abakulembeze okuyamba abaana okukuza ebitone byabwe  n'okubikuza era n'okubayamba okwekumira mu ssomero.

Agambye nti emizannyo nga giwa abaana bonna omukisa okuvuganya n'okulaga talanta zaabwe nasaba buli muntu olwenyigira mu lutalo lw'okutyobola eddembe ly'abaana

Alaze obukulu bw'abazadde okukuumira abaana ab'obuwala mu masomero kyagamba nti kibatangira ebikolwa eby'okutyobola eddembe lyabwe.

Nandy alaze essanyu olw'ebitone ebizimbiddwa mu kitundu kino omuvudde abaddusi ku mutendere gwenso yonna okuli; Joshua Cheptegei, Stephen Kiprotich, Victor Kiplangat, Chemutai Peruth, Kipsiro Moses ne Jacob Kiplimo bagamba nti kyakulabirako eri abaana abato.

Oluvannyuma wabaddewo okuwa abaana abanywedde mu bannabwe akendo mu misinde satifukeeti n'emiddali.

Help us improve! We're always striving to create great content. Share your thoughts on this article and rate it below.

Tags: