EKIBIINA ekigatta Bannamateeka mu ggwanga ekya Uganda Law Society kisabye akakiiko k’eddembe ly’obuntu mu ggwanga aka Uganda Human Rights Commission okwongera amaanyi mu kulwanirira eddembe ly’obuntu mu ggwanga erigenze lityoboolwa abantu ab’enjawulo.

Lillian Drabo (ku kkono) ng'ayogera eri Bannamawulire. Ku ddyo ye Ssali Babu
Lillian Drabo nga naye munnateeka agambye nti ensangi zino waliwo n’abantu abakwatibwa nebasukka essaawa 48 ezirambikiddwa mu mateeka nga tebanatwalibwa mu kkooti kyeyagambye nti kirina okukomezebwa kubanga tekikoma ku kumenya mateeka wabula kireetera n’abenganda z’oyo aba akwatiddwa okweraliikirira ennyo nga tebananyi muntu wabwe gyali ekintu ekitali kituufu.