Amawulire

Owa securiko bamukutte n'enkoko 3 ezigambibwa okuba enzibe mu kutiya n'ebyuma ebimenya enzigi

OMUSERIKALE w'ekitongole ky'obwannannyini ekikuumi bamukutte n'enkoko ssatu ezigambibwa okuba enzibe ng'azipakidde mu kutiya n'ebyuma ebimenya enzigi mu kiro ekikeesezza olwaleero.

Owa securiko bamukutte n'enkoko 3 ezigambibwa okuba enzibe mu kutiya n'ebyuma ebimenya enzigi
By: Godfrey Kigobero, Journalist @New Vision

OMUSERIKALE w'ekitongole ky'obwannannyini ekikuumi bamukutte n'enkoko ssatu ezigambibwa okuba enzibe ng'azipakidde mu kutiya n'ebyuma ebimenya enzigi mu kiro ekikeesezza olwaleero.

 

Emmanuel Okello, akwatiddwa mu kikwekweto ekikoleddwa poliisi mu bitundu by'e Ntebe, Nsangi ,Nateete, Kabalagala, Katwe, Kajjansi ne Kinnawattaka era nga bayodde abantu abalala abasoba 250.

 

Babasanze n'obwambe, ebyuma ebyeyasimbisibwa mu kumenya, enjaga , ebintu ebigambibwa okuba ebibbe era ng'okubasunsulamu kugenda mu maaso ku poliisi ez’enjawulo gye babakuumira.

 

Poliisi egenda mu maaso n'ebikwekweto bino, okusobozesa abantu okuyita obulungi mu nnaku enkulu nga baggyamu abo, abagambibwa okwenyigira mu kubba, okusala ensawo n'emize emirala.

 

Omwogezi wa poliisi mu Kampala, Racheal Kawala, ategeezezza nti nga bamaze okubasunsulamu, baakutwalibwa mu kkooti bavunaanibwe emisango egy’enjawulo.

Help us improve! We're always striving to create great content. Share your thoughts on this article and rate it below.

Tags:
Amawulire
Enzigi
Omuserikale