Amawulire

Omusomo gwa Pakasa gutandika nkya ku Lwokuna : Okuyingira kwa bwereere!

Ku Lwomukaaga, y'entikko y'emisomo gino mu kifo kye kimu, era nga minisita w'ebyobusuubuzi , amakolero n'obwegassi Sanjay Tanna, y’asuubirwa okuggulawo era ng'abakugu bangi mu business abagenda okusomesa abantu.

Omusomo gwa Pakasa gutandika nkya ku Lwokuna : Okuyingira kwa bwereere!
By: Godfrey Kigobero, Journalist @New Vision

Enkya, emisomo gya Pakasa gitandika mu butongole wali e Butabika ku bbaanguliro ly'ekitongole kya Enterprise Uganda era gigenda kuggulwawo minisita w'ebyensimbi  Henry Musaasizi.

 

Ku Lwomukaaga, y'entikko y'emisomo gino mu kifo kye kimu, era nga minisita w'ebyobusuubuzi , amakolero n'obwegassi Sanjay Tanna, y’asuubirwa okuggulawo era ng'abakugu bangi mu business abagenda okusomesa abantu.

 

Gutegekebwa Vision Group era ng' abaguvujjiridde kuliko aba Centenary  Bank, aba Pearl Bank, minisitule y'ebyensimbi, ekitongole ekiwooza emisolo ekya URA, Global Entrepreneur network n'abalala.

 

Yasin Katwere nnannyini kibanda ky'emmotoka ekya Success Motors e Nakawa mu Kampala, Barbra Ofono ow'amasomero ga Victorious , Dr. Benon Luggya owa Maganjo Grain Millers, Owek. Gaster Lule Ntakke n'abalala bangi be basuubirwa okusomesa mu musomo guno.

 

Akulira Enterprise Uganda Charles Ocici, ayongedde okukoowoola abantu okugenda mu bungi e Butabika bayige bingi ku bizinensi.

 

Omu ku bategesi b'omusomo guno, Moses Mulondo owa Vision Group, agambye nti omusomo gwa bwereere, era n'akoowoola abantu bagende bayige bwe batandika bizinensi, bwe bazirabirira, engeri gye basobola okunoonya obutale n'ebifo  gye basobola okwewola ssente.

Help us improve! We're always striving to create great content. Share your thoughts on this article and rate it below.

Tags:
Pakasa
Musomo
Kusoma