Amawulire

Poliisi z'e Rwanda ne Uganda zisse omukago ku kwongera okulwanyisa obumenyi bw'amateeka mu mawanga gombi.

Omuduumizi wa poliisi mu ggwanga, Abas Byakagaba nga bali wamu n'omuduumizi wa poliisi e Rwanda, CG Felix Namuhoranye, batadde omukono ku ndagaano eyongera okunyweza enkolagana ey’emyaka esatu, mu kulwanyisa obumenyi bw'amateeka mu mawanga gombi.

Poliisi z'e Rwanda ne Uganda zisse omukago ku kwongera okulwanyisa obumenyi bw'amateeka mu mawanga gombi.
By: Godfrey Kigobero, Journalist @New Vision

Omuduumizi wa poliisi mu ggwanga, Abas Byakagaba nga bali wamu n'omuduumizi wa poliisi e Rwanda, CG Felix Namuhoranye, batadde omukono ku ndagaano eyongera okunyweza enkolagana ey’emyaka esatu, mu kulwanyisa obumenyi bw'amateeka mu mawanga gombi.

Abamu ku baserikale abaabadde e Rwanda

Abamu ku baserikale abaabadde e Rwanda

Enkola eno, yaakubayamba okunyweza ebyokwerinda munda mu mawanga gombi, ku nsalo zaago, okukolera awamu ebikwekweto ku bumenyi bw'amateeka, okunyweza enkola ey’ekikessi , okutendeka abaserikale n'okubalung’amya mu nkola y'emirimu, okulwanyisa ekikukusabantu , okulwanyisa ebikolwa eby’ekitujju , okulwanyisa okukukusa ebiragalagala n'obuzzi bw'emisango obulala bungi.

 

Omukolo gw'okussa emikono ku ndagaano eno, gukoleddwa ku kitebe kya Rwanda National Police { RNP}  e Kicyiru , wakati w'abakulu bombi okuwerekerwako abakungu ku mitendera egy’enjawulo.

 

Enteekateeka eno, yaakkaanyizibwako nga August 22, 2025 nga kati yassiddwa mu nkola. Mu kwogera kwe, omuduumizi wa poliisi e Rwanda, IGP Namuhoranye asanyukidde enkola eno era n'agamba nti yaakuyamba okwongera obwasseruganda mu mawanga gombi n'okwongera okunyweza ebyokwerinda.

 

Agasseeko nti kino kibawa obweyamo nti poliisi mu mawanga gombi, yaakwongera okukuuma bannansi n'ebintu byabwe n'agattako nti etandikiddewo mbagirawo okussibwa mu nkola.

-

IGP Abas Byakagaba, agambye nti endagaano eno , buwanguzi bw'amaanyi eri ebyokwerinda by'amawanga gombi n'ebitongole ebikuumaddembe .

Help us improve! We're always striving to create great content. Share your thoughts on this article and rate it below.

Tags:
Poliisi
Mukago
Rwanda
Uganda
Amawulire