Minisita omubeezi ow’ebyenjigiriza ebyawaggulu John Crysestom Muyingo akuutidde abayizi ba International University of East Africa (IUEA) abatikkiddwa olwaleero okwongera obuyiiiya nga beyambisa amagezi agabawereddwa mu misomo gye bamaliriza kibasobozese obutakoowa kutambula nga banonya emirimu.
Agambye nti obuyiiya, obuvumu n’okutambulira ku ssayansi ne tekinologiya aleeteddwa mu nsi y’emu kungeri abayizi abasomeseddwa gye basobola okuwangulamu n’okuteka amagezi mu bye bayigiriziddwa.

Minisita Muyingo ng'ali ku matikkira
Okwogera bino, abadde ku matikkira ga IUEA e Kansanga mwebatikidde abayizi abasoba mu 600 abatikiddwa oluvanyuma lw’okumaliriza emisomo egyenjawulo mu mateeka, bizinensi, sayansi ne tekinologiya.
‘Nebaza abakulu abaddukanya yunivasite ya IUEA okuteeka amanyi mu buyiiya, okutondawo ebintu ebyenjawulo omuli n’okusomesa engeri gyewetandikirawo emirimu nga gano gemakubo agenjawulo abavubuka mwe basobola okuyita okwejja mu bwavu.
muyingo yayongedde nategeeza abayizi abatikiddwa nti gavumenti neetegefu okuyambako abavubuka ku mitendera egyenjawulo n’okuvujjirira abamalirizza emisomo gyabwe abalina ebirowoozo ebisobola okukyuusa eggwanga.
Gano gabadde amatikkira ga IUEA aga 12 bukyanga yunivasite eno etandikibwawo, mu bayizi abatikiddwa mwabaddemu n’Omubaka wa Lubaga South,Mukasa Aloysious eyafunye diguli mu by’amateeka.
Amyuuka cansala ya yunivasite Emeka Akaezuwa akubirizza abayizi okukozesa ebibasomeseddwa okunonyereza n’obuyiiya kibasobozese okwetandikirawo emirimu egyabwe n’okubako kye beyongerako .

Abamu ku batikkiddwa
Yategezezza nti ensomesa yabayizi ensangi zino etambulira ku buyiiya obwenjawulo n’okweyambisa tekinologiya owenjawulo okubeerako bye batandikawo kibayambe okuvuganya ku katale k’emirimu.
Mu bayizi abatikiddwa mwabaddemu abasukkulumye ku bannabwe nga balina obuyiiya bwe batandisewo omuli engeri y’okuterekamu ebintu eby’omulembe ebikolebwa obutononeka, obuyiiya bw’ebyuuma ebisima eby’obugagga okuva mu ttaka, n’ekyuuma kya sayansi ekisobola okuyamba okuwa omuntu obujjanjabi nga tali kumpi n’eddwaliro.
Cosmas Mwikirize omusomesa ku yunivasite ya IUEA ategezezza nti abayizi abatikiddwa balina okukozesa byebafunye mu yunivasite okusobola okukyusa obulamu bwabwe wabula ssi kutuula na diguli zabwe mu mayumba.
ayongedde nabakubiriza obutatya kugezako n’okulemererwa kubanga lino ly’erimu ku makubo agayitibwamu okuleeta enkyukakyuka mu buli kintu ekikolebwa.