Abawagizi b'abeesimbyewo, balwanaganye, bangi ku bbo, ne batuusibwako ebisago ebyamaanyi..
Bino, bibadde mu ppaaka ya ttakisi mu Kabuga k'e Kakooge mu disitulikiti y'e Nakasongola wakati w'abawagizi ba Stephen Bugingo n'aba Ivan Kyeyune.
(Vidiyo ng'eraga embeera nga bwe yabadde)
Kigambibwa nti Bugingo abadde n'olukung’aana mu kifo ekyo nti abawagizi be babadde bagumbulukuka, abawagizi ba Kyeyune ne batuuka mu bibinja nga bali ku pikipiki ne batandika okubasoomooza nga kino kivuddeko okulwanagana.
Omwogezi wa poliisi mu Savanna, Sam Twiineamazima, agambye nti abawagizi ba Bugingo balumiziddwa era ng'omusango gw'okulumya gugguddwawo ne bakwatako abantu basatu.
Agasseeko nti omuyiggo gw'abalala, gukolebwa era ng'abalumiziddwa, batwaliddwa mu ddwaaliro lya st Francis Health Center IV okufuna obujjanjabi.