Amawulire

Minisita Mayanja alabudde poliisi ye Nakasongola olw'okujeemera ebiragiro bye

MINISITER omubeezi ow'ebyettaka Dr Sam Mayanja akukkulumidde poliisi e Nakasongola okulemererwa okukola omulimu gwayo ssaako ogw'okukwaata n'okukuuma abantu ku bibanja byabwe kyokka ne babaleka okubonabona wamu ne ofiisi z'ebyettaka e Bukalasa.

Minisita Mayanja ng'ayogera
By: Wasswa Ssentongo, Journalists @New Vision
MINISITER omubeezi ow'ebyettaka Dr Sam Mayanja akukkulumidde poliisi e Nakasongola okulemererwa okukola omulimu gwayo ssaako ogw'okukwaata n'okukuuma abantu ku bibanja byabwe kyokka ne babaleka okubonabona wamu ne ofiisi z'ebyettaka e Bukalasa.
 
Minister okwogera binno asinzidde mu lukiiko olw'atudde ku kyalo Wakasambya mu Ggombolola ye Kakooge mu district ye Nakasongola abatuuze mu Ggombolola 30 okuli Kakooge, Katuugo ne Wabinyonyi mwe bagugulikana ne family y'omugenzi Minaawa ng'entabwe eva kulemerera kubawa byapa byabwe byebabasuubizza kyokka nga bbo bagamba nti obuzibu buva ku ofiisi ye bye ttaka e Bukalasa.
Minisita Mayanja ng'ayogera

Minisita Mayanja ng'ayogera

 
 
Enno bakira buli akwaata akazindaalo yewunya engeri ettaka lya Minawa jerigenda likula nga ebimera ekiviriddeko n'abaddukanya ebyapa e Bukalasa okugaana okubawa ebyapa byaabwe nga embirigo yonna eva Bukalasa nga basabye Minisiter Mayanja abataase.
 
Minaawa Famiire nga bayitta mu lawyer waabwe Jamal Bakit banyonyodde nti ettaka omungenzi Ibrahim Minaawa yalifuna mu uganda land commission mu mwaka ogwa 1975 era nawebwa ekyapa kya hectares 1295.
 
Bakit yeekokodde enguzi efumbekedde e Nakasongola ne Bukalasa bwategeezeza nti akulira eby'ettaka amanyidwa nga Ssegujja yamusaba obukadde 100 okukola ku kyapa.
 
Mu kwanukula minister Mayanja kino akitadde ku poliisi ye Nakasongola bw'ategeezezza nti enfunda eziwera tebateeka biragiro bye mu nkola ekiviriddeko abatuuze okubonabona
 
Mayanja era agambye nti bagenda kunonyerezza ku Segujja singa kizuulibwa nti ebimwogebwako bituufu wakudda ebbali okutuusa nga okunonyerezza kuwedde era n'agumya abantu nti ensonga zino kaziyingiddemu bakufuna ebyapa.
Tags: