Amawulire

Poliisi mu Savanna etaddewo ennamba ezitali zaakusasulira abantu kwe bakuba nga beekengedde

POLIISI mu kitundu kya Savanna, etaddewo ennamba z'amasimu eri abantu okukubako nga balina kye beekengedde n'okuloopa obumenyi bw'amateeka obuyinza okubalukawo mu nnaku enkulu.

Poliisi mu Savanna etaddewo ennamba ezitali zaakusasulira abantu kwe bakuba nga beekengedde
By: Musasi Bukedde, Journalists @New Vision

POLIISI mu kitundu kya Savanna, etaddewo ennamba z'amasimu eri abantu okukubako nga balina kye beekengedde n'okuloopa obumenyi bw'amateeka obuyinza okubalukawo mu nnaku enkulu.

Region ya SAVANA, ekoleddwa disitulikiti omuli Nakaseke ng'eno poliisi yayo , etaddewo ennamba 0741243787 , waliwo ey'e  Luweero ng'ennamba eri 0762918136 ne Nakasongola ng'eri 0393239881 abantu ze balina okukubako , okuloopa.

Omuduumizi wa poliisi mu Savana, SSP Micheal Kasigire , asabye abantu okubeera obulindaala n'okwewala ebikolwa eby'obutabanguko mu maka nga bali mu ggandaalo.

Abakuutidde okwekenneenya ennyo ekifa mu baliraanwa, obutaleka mayumba gaabwe nga temuli akuuma, okwewala obubenje n'ebikolwa eby'ekitujju.

Ng'ayita mu mwogezi wa poliisi mu kitundu ekyo, Sam Twiineamazima, RPC Kasigire, abaagalizza okuyita mu nnaku enkulu obulungi n'okukolagana n'ebitongole ebikuumaddembe nga baliko kye beekengedde.

Tags:
Amawulre
Polisi
Nnamba
Kusasulira
Kuteekawo