Amawulire

Kyagulanyi atongozza manifesito ya NUP evvuunuddwa mu nnimi 8

EKIBIINA kya NUP kitongozza manifesto yaakyo evvuunuddwa mu nnimi ennansi 8 era pulezidenti waakyo Robert Kyagulanyi Ssentamu n’asuubiza nti, ng’awangudde akalulu, gavumenti ye ya kukulembeza obumu mu bannansi n’okusonyiwagana.

Pulezidenti wa NUP, Robert Kyagulanyi ng’ayogerako eri abawagizi be e Nakasongola.
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalists @NewVision

EKIBIINA kya NUP kitongozza manifesto yaakyo evvuunuddwa mu nnimi ennansi 8 era pulezidenti waakyo Robert Kyagulanyi Ssentamu n’asuubiza nti, ng’awangudde akalulu, gavumenti ye ya kukulembeza obumu mu bannansi n’okusonyiwagana.
Manifesto ya NUP evvuunuddwa mu nnimi 8 yatongozeddwa ku kitebe e Makerere-Kavule ku Lwomukaaga ng’essira eritadde ku nsonga 11 okuli; okuwa gavumenti z’ebitundu obuyinza obumala okuweereza obulungi abantu, okuzzaawo n’okunyweza enfuga ey’amateeka, okukuuma Ssemateeka, okussa ekitiibwa mu ddembe ly’obuntu, okulwanyisa obubbi n’obulyake mu bitongole bya gavumenti n’okukomya okujaajaamya ssente y’omuwi w’omusolo n’ebirala.
Kyagulanyi Ssentamu yagambye nti, mu gavumenti yaabwe, baakufuba okuzzaawo obumu mu Bannayuganda, okusonyiwagana, okutuusa obuweereza okuli, ebyobulamu, ebyenjigiriza, amazzi amayonjo n’ebirala ku bantu bonna.
Mu nteekateeka y’okutumbula ebyenjigiriza, balina enteekateeka y’okuliisanga abaana mu masomero ga gavumenti kibayambe okusoma nga si bayala. Balina enteekateeka y’okulwanyisa ekibbattaka n’okunyweza obwannannyini bwa Bannayuganda bonna ku ttaka.
Kyagulanyi yasiimye bonna abaabadde emabega wa manifesito eno n’abakoze omulimu gw’okugikyusa mu nnimi ez’enjawulo okusobozesa Bannayuganda bonna okugitegeera obulungi. Yakunze Bannayuganda bonna naddala abavubuka abakozesa emitimbagano nga Tik-Tok ne facebook okubunyisa manifesito eno okusobola okutuuka ku buli muntu wonna waali.
AYUUGUUMIZZA NAKASONGOLA
Nga tannatongoza manifesito, Kyagulanyi yasoose Nakasongola gye yatuukidde mu maanyi n’ebbugumu n’akuba olukuhhaana gaggadde ku ggombolola y’e Kalungi ng’ali n’abamu ku bakulembeze ba NUP.
Abantu baamulaze omukwano bwe baamulindiridde ku makubo buli wonna gye yayise era abamu baamugoberedde okuva lwe yayingidde ku nsalo ya Nakasongola ne Luweero nga bali ku boda boda n’obugaali nga bwe bawuuba amatabi g’emiti.
Kyagulanyi yennyamidde olwa poliisi okumuggalira amakubo n’esalawo okumwetoolooza.
“Mmaze essaawa 6 nga ntambula okutuuka wano okuva e Kampala,” Kyagulanyi bwe yategeezezza n’ayongerako nti; “Wadde embeera eno etukosa olw’amafuta amangi ge tukozesa tetugenda kuva ku mulamwa era etuyambye okumanya ebizibu ebiruma abantu.” Yasuubizza okuyimbula abasibe bonna abaakwatibwa olw’ebyobufuzi n’okuzzaawo ebibiina by’obwegassi.
Leero (Mmande) Kyagulanyi addamu okuyiga akalulu e Butebo ne Budaka.

Tags: