Abatandesi ba kiraabu ya Arsenal 10 be bagebda nda okubeera mu lukung'ana luno olusookedde ddala bukya ggwa ga lya Rwanda olutegekeddwa omulindi ogusooka.
Bino bye bimu ku bitegeezeddwa kkampni ya RG Consult.okukwataganya abawagizi ba kiraabu ya Arsenal okuva mawanga ga Africa.
Okuwewandiisa kugguddwawo ku mukutu www.arsenalafricaconvention.rw ogwagguddwawo okusobozesa abanaagenda babssekinoomu, amatabi g'abawagizi, akademe n'ebirala.
"Tusuubira abantu 20,000 okubeera mu kisaawe kya Amahoro mu Rwanda. Abawagizi ba Arsenal mukozese omukisa guno okwegatta ku kiraabu yammwe onutereevu. Abazadde mutwale abaana bammwe batendekebwe n'okulabibwa abatendesi ba kiraabu ennene eye Arsenal," maneja wa RG consult Remmygius Lubega bwategeezezza.
Wabula Lubega ategeezezza nti ebisale ebitwala abanalwetabamu tebinaba kulambikibwa.
" Kuno kwewandiisa. Ebisale bijja kulambikibwa luvannyuma maye mwewansiise," Lubega bw'alambise.
Mu ntegeka zino, abaaliko akasambi ba ttiimu ya Arsenal abali mu Africa okugeza Kanu Nkwanko bagenda kusamba ne kiraabu ezimu ennene ku lukalu lwa Africa.
Ye Omupoliisi eyawummula Asan Kasingye ategeezee nti kino kye kiseewa abawagizi basaanye okuva ku buwagizi badde ku muteeka ensimbi mu kiraabu ya Arsenal.
"Nze natandika okuwagira Arsenal mu 1991nga ndi Bilaaya. Kiberra kya bbeeyi okugula omujoozi nga kiraabu yo ng'efunye ssente," Kasingye bw'ategeezeza