MMEEYA wa Munisipaali y’e Nansana Regina Musoke Bakitte Nakkazi asabye abavubuka Abasiraamu okukozesa ebitone byabwe eby’okukuba amataali okuyisaamu obubaka okutaasa obutonde bw’ensi.
Bakitte yabyogeredde mu kutongoza woofiisi y’abavubuka abakubi b’amataali mu Nansana eya Kampala Mataali events, n’basaba okweyambisa ennyimba ze bayiiya mu nkola z’amataali okubunyisa enjiri y’okutaasa obutonde bw’ensi obufudde okugeza okukubiriza abantu okusimba emiti ate n’obutatema egyo egisangiddwawo kwossa n’okukuuma ebintu nga biyinjo.
Abasiraamu nga bakuba amataali
Yategeezezza nti bwe bakikola, baba batadde ettoffaali ku nkulaakulana y’eggwanga.
Bakitte yasabye abavubuka Abasiraamu okwewala okuzannya zzaala singa baakutuuka ku nkulaakulana gye beetaaga n’agamba nti abavubuka bangi balemereddwa okutuuka ku bye baagala olw’okuba ssente ze bakolawo ate bazizza mu kuzannya zzaala abasibye mu bwavu obw’ekitalo.
Yabasabye okuwa abantu abakulu ekitiibwa singa baakuwangaalira mu bye bakola ate n’okusaka amagezi okuva eri ababasinga.
Omutandisi w’ekibiina kino Abdnoor Haruna Khalifah, yategeezezza nti ekibiina kino kiyambye ku baana abatalina mwasirizi okubayiggira ffiizi ate ezibazizza ku ssomero kwossa n’obuyambi obulala.
Ono era agamba nti kibasobozesezza n’okutaakiriza ku bavubuka abamu abakozesa ebiragalalagala nga babakumaakuma okwenyigira mu mirimu egibayamba n’okutumbula ebitone byabwe mu ngeri y’okuziyiza obumenyi bw’amateeka.
Yasabye Gavumenti okujjukira abayimbi Abasiraamu nabo okufuna ku ssente ezigabibwa mu bannabitone okusobola okutuuka ku nkulaakulana n’okukuza ebitone byabwe.