BADDEREEVA ne bakondakita ba ttakisi basiimye Pulezidenti Museveni okukkiriza okutunula mu bizibu ebibanyiga naddala ebipapula bya poliisi.
Bino biddiridde Pulezidenti Museveni bwe yabadde ajaguza amazaalibwa aga 81 e Kololo ku Ssande yasuubizza okukola ku bizibu ebyamuloopeddwa Ssentebe w’ekibiina omwegattira aba ttakisi ekya UTOF, Hajji Rashid Ssekindi.
Bwe yabadde amuloopera ebizibu byabwe, Ssekindi yannyonnyodde nti, balina ebipapula bye baludde nabyo ebyabakubwa okuva mu 2013 nga Gen. Kayihura ye IGP ne Steven Kasiima nga y’aduumira poliisi y’ebidduka.
Ssekindi bwe yavudde e Kololo, eggulo ku Mmande yakedde kuyita lukiiko lw’addukanya nalwo omulimu gwa ttakisi abataabadde Kololo okubategeeza ebyavuddeyo.
Yayongeddeko nti, beekubira enduulu ewa minisitaw’ebyensimmbi naye ne batayambibwa kubanga yagaana okulagira URA okusazaamu ebipapula, era ne bisigala mu sisitiimu kyokka ng’emmotoka ezimu bannyinizo baali bamaze okuzitunda.
Baddamu okuwandiikira kamisona genero wa URA nga June 20, 2023 nga bamutegeeza ensobi ezaali mu bipapula ebyakubwa mu bukyamu nga bamusabaakkirize babisangulemu kyokka tewali kyakolebwawo n’okutuusa kati.
“Kyokka mu mwaka gwennyini ekitongole kya poliisi y’ebiduuka mwalimu abaserikale abaggyanga ku baddereeva baffe ssente nti, bagenda kusangulamu ebipapula ebyo kyokka nga tebamanyi nti, sisitiimu ekwatagana ne URA, bagenda okumaliriza nga bababbye era abamu bakama baabwe baabagoba mu bifo ebyo.”
Ssekindi yategeezezza nti, baatandika okunoonya Pulezidenti okulaba ng’ensonga eno abayamba agiyingiremu nga babakuba ebikono okutuusa ku Ssande lwe baamusisinkanye e Kololo ne bamusaba abakolere ekisa abawe ekirabo nga kye yawa abasuubuzi ku nkola ya EFRIS nabo abasonyiwe.“Osanga mmotoka nga ya bukadde 15, kyokka nga erina ebipapula bya bukadde mwenda ekitegeeza nti, nnannyini yo alina kugitunda alyoke asasule omusolo”, Ssekindi bwe yategeezezza.
Yagambye nti, baasembayo okulaba omuwendo gwa ssente URA z’ebanja abatakisi bonna mu ggwanga mu 2024, nga ziri obuwumbi butaano n’ekitundu.
“Kati mu kiseera kino nsuubira nti, mmotoka zaffe zonna bazibanja obuwumbi nga mukaaga obw’omusolo gwa EPS, nga kino kitono nnyo ku Pulezidenti, asobola okutusonyiwa ne tutandika bupya era tulindiridde Olwokuna lwa wiiki eno okulaba ky’anaatuddamu”, Ssekindi bwe yagambye.
Baasuubiza nti, kino Pulezidenti Museveni bw’anaakikola n’abasonyiwa omusolo gwa EPS, bagenda kumunoonyeza akalulu alinde kulayira.
Omumyuka wa Ssekindi owookubiri, Steven Kidde yasabye abatakisi bonna obutakkiriza wa poliisi ya bidduka yenna kukuba pamiti zaabwe bifaananyi kubanga ne mu nnaku zino waliwo omugoba wa mmotoka eyasanze owa poliisi n’akebera mmotoka nga terina bipapula ne