ABAZADDE basobeddwa bwe basanze ng’essomero mwe babadde basomeseza abaana limenyeddwa ne basaba abakulembeze babataase abaana baabwe bafunye we basomera ttaamu eno esembayo.
Essomero erimenyeddwa lye lya Mulago Bright Standard P/S nga libadde n’abayizi 250. Lisangibwa mu UEB zooni e Mulago mu minisipaali y’e Kawempe nga lyamenyeddwa lwa nkaayana za ttaka.
Omu ku bazadde, Fauster Ndagaano yagambye nti, yaakasomesezaawo abaana 5, ng’ekikolwa ekyakoleddwa kya kutaataaganya ebyenjigiriza mu kitundu kyabwe.
Nnannyini ssomero lino, Patrick Mukose 54, yagambye nti, ekifo omuli essomero yakipangisa ku Joseph Christopher Kiwanuka mu 1998, wabula mu 2004 bakkiriziganya ne Kiwanuka buli ttaamu amusasulenga 1,000,000/-,
okusinziira ku ndagaano kyali kya myaka 5. Bakkanaya Mukose addaabirize ebizimbe ebyaliebikadde naye kye yakola. Yagambye nti, essomero lino liva ku nnasale okutuuka ku P.7 nga lya kisulo n’abava ebweru.
Yagambye nti, nga bamaze okukkaanya yazimbako ebizimbe ebipya okuli n’ekyamenyeddwa okubadde P4 , P5, P6 ne P7 nga yakozesa obukadde 60 okuddaabiriza n’okuzimbawo ekizimbe ekipya. Wano we yasinziira obutaddamu kusasula, nga yeewuunyizza okulaba bawannyondo nga tebamutemezzaako kunsonga yonna. Mu 2017 baamuwawaabira mu kkooti e Nabweru nga bamubanja obukadde 14 ekyamuviirako okusibwa.
Munnamateeka wa Kiwanuka, Jjuuko Kayima yategeezezza nti, ekyakoleddwa kyabadde mu mateeka oluvannyuma lwa kkooti y’oku City Hall okuyisa ekiragiro ky’okumenyawo ebizimbe ku ttaka lino nga kino baakitadde mu nkola. Kino kyakoleddwa oluvannyuma lw’ekitongole kya KCCA okwemulugunya ku ndabikay’ebizimbe embi ng’ate musomesebwamu abaana b’eggwanga nga n’omutindo mubi.
Kayima yagasseeko nti, abaana ababadde mu ssomero baakoze enteekateeka ez’okubasasulira ebisale mu ssomero lya St. Martine Mulago ng’era Mukose baamusuubizza obutagoberwawo wabula nga bagenda kuteesa naye bamuweeyo ssente afune entandikwa, kuba wano aliwo mu bukyamu.
Omumyuka wa Ssentebe wa LC II mu muluka Mulago II, Omulangira Simbwa Kayondo yavumiridde eky’omumenya essomero wakati mu mwaka ng’abaana bali mu ttaamu esembayo okuli n’aba P7 n’asaba be kikwatako okuyingira mu nsonga zino okutaasa abaana b’eggwanga baleme kufiirwa