Bakutte 3 abasse entulege

EKITONGOLE ekikuuma ebisolo mu ggwanga kikutte abavubuka basatu abagambibwa okutta entulege.

Abavubuka abagambibwa okukwatibwa n’ennyama y’entulege.
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

EKITONGOLE ekikuuma ebisolo mu ggwanga kikutte abavubuka basatu abagambibwa okutta entulege.
Abaakwatiddwa kuliko; Abas Jackson,27, Isaac Niwabine,25, ne Mathias Ankunda,27, nga bano bonna batuuze b’e Ntugamo nga baakwatiddwa lubona nga basse entulege ne bagisalamu ennyama nga baagala okugiguza abantu.
Abakwate bano baasangiddwa ku mwalo gwa Bushira site nga September 7, 2025 nga basse entulege 2, basobole okufuna ssente ez’amangu ezirabirira ffamire zaabwe.
Abakwate baategeezezza poliisi y’e Kiruhura nti, ennyama gye baabasanze nayo baabadde bagenda kugitunda emitwalo 2 buli kkiro, kyokka baabadde tebannagitunda ne babakwata, nga baabasanze n’ebiso bye baakozesezza okuzitta.
Oluvannyuma abakwate baatwaliddwa ku poliisi y’e Kiruhura gye bagguddwaako omusango gw’okutta entulege ku fayiro nnamba CRB 176/2025.
Omwogezi w’ekitongole ky’ebisolo mu ggwanga ekya Uganda Wildlife Authority, Bashir Hangi yategeezezza nti, abavubuka abaakwatiddwa bagenda kutwalibwa mu kkooti bavunaanibwe.
Hangi era yategeezezza nti, baakunoonya abo bonna abazze batta ebisolo n’abasuubira okubitta basobole okubakwata bavunaanibwe.
Mu kiseera kino abakwate bakuumibwa ku poliisi y’e Katwe nga bwe balindirira okutwalibwa mu kkooti, ate ennyama y’entulege yabadde mu kkuumiro ly’ebisolo