OMULABIRIZI wa Busoga, Dr. Paul Samson Naimanhye atuuzizza ba Reverand Canon bataano mu Bulabirizi bw’e Busoga n’abasaba okubeera abeetoowaze eri Abakristaayo.
Dr. Naimanhye yategeezezza ng’abaaweereddwa obwa Rev. Canon, mulimu ne Rev. Can. Simon Peter Dembe lya Yesu, okuva mu Bulabirizi bw’e Kampala, gwe yagambye nti, abadde akolera wansi we nga Ssentebe w’akakiiko akasaasaanya enjiri mu Bussaabalabirizi bwa Uganda, n’akiraba nti, mukozi mulungi, wa ggonjebwa asaanidde okuweebwa obwa Canon.
Abalala abaaweereddwa obwa Rev. Canon, ye; Rev. Can. Aggrey Mutebe, Rev. Can. Jackson Michael Kintu, Can. Capt. Alfred Hasahya ne Rev. Can. Joshua Mutabule owa St. Andrews Church-Jinja.
Ng’abuulira, Diini wa Lutikko y’e Bugembe, The Very Reverend Can. Dr. Joy Mukisa Isabirye, yakubirizza abaatuuziddwa ku bwa Canon, okubeera abeetoowaze mu maaso g’Abakristaayo be bagenda okuweerezaamu.
“Muweereddwa obwa Rev. Can, okwetoowaza, mujjule Omwoyo Omutukuvu, mubuulire enjiri y’Obulokozi, muweereze abantu bonna, awatali kusosola muntu yenna abeere mugagga oba mwavu, wadde okusosola omuntu yenna olw’ekibiina ky’obufuzi ky’awagira oba okukkiririzaamu”, Can. Dr. Joy Mukisa Isabirye, bwe yababuuliridde.
Omukolo gwetabiddwaako Omulabirizi eyawummula, Dr. Micheal Sosani Kyomya ne mukyala we Florence Kyomya, omuwandiisi w’Obussaabalabirizi bwa Uganda, Rev. Can. Capt. Wiliiam Ogeng, baka Balabirizi Catherine Kitto (Mukono), Dr. Margaret Ssuubi (East Busoga), n’abasomesa okuva mu ttendekero lya Uganda Christian University