Abatuuze be Bukasa beemulugunyizza ku limbo ya KCC

ABATUUZE be Bukasa-Namataba -Kirinya mu munisipaali ye Kira bemulugunyizza ku kivundu ekiva mu mirambo egiziikibwa mu limbo ya KCCA ekibavirideko okulwala endwade ezitali zimu.

Omutuuze ng'alaga limbo ya KCCA
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

Bya Edward Luyimbazi

ABATUUZE be Bukasa-Namataba -Kirinya mu munisipaali ye Kira bemulugunyizza ku kivundu ekiva mu mirambo egiziikibwa mu limbo ya KCCA ekibavirideko okulwala endwade ezitali zimu.

Nga bakulembeddwa Sentebe waabwe Ddirisa Byamukama ategeezezza nga ekifo kino bwekifuuse eky’obulabe eri abatuuze be olw’ekivundu ekiva ku Mirambo egiziikibwa okumpi embwa ne zigiggyayo olwo ekivundu ne kitandika okubatta obussi....

 Atwala ebyokwerinda e Bukasa-Kirinnya Steven Ssembatya yakiriziganyiza n’okwemulugunya kwa batuuze ku mirambo gino egibeera giwunya nadala mu kiseera kyokugiziika  oba oluusi nga waliwo anonye omuntu we ,ekivundu kino kyabulabe nnyo eri ababeera okumpi ne kifo kino.

Omutuuze ng'annyonnyola ekizimbu kya limbo

Omutuuze ng'annyonnyola ekizimbu kya limbo

Era balina n’okusomozeebwa mu nsonga z’ebyokwerinda,Ssembatya bwategezezza nti olukomera olwazimbibwa ku limbo lwaletaawo obutali butebenkevu kubanga waliwo ababbi abeyambisa ekifo kino nga bwebamala okubba nga baddukira eyo kubanga waliyo ekizikkiza.

 Omumyuka wa Mmeeya wa Munisipaali ye Kira Rashidah Musoke Nanyonga  yagambye nti kitufu abantu okuva e Bukasa beekubira endulu eri bo ku nsonga za limbo eno olw’ekivundu ekivaamu.

  Ng’olukiiko lwa Munisipaali ye Kira,Nanyonga agamba baali bayisa ekiteeso okuyimiriza okuziika abantu mu kitundu kino era ebbaluwa eno basubiira yatuuka mu offiisi za KCCA naye engeri ekifo gyekitali mu Kampala kyebava tebakifaako nnyo.

 Omwogezi wa KCCA Daniel Nuwabine yagambye nti nga KCCA bagala okuddabiriza ebifo ng’ebyo gyebaziika abantu ababuliddwako abaabwe bibeera mu mbeera eyeyagaza nga tebiswaza Ggwanga. Era balina Bukasa ne Lusaze.