ABATUUZE ababadde abakambwe, bakakkanye ku bakanyama bana ne babakuba emiggo omu n'afa.
Kiddiridde bakanyama 50 abagambibwa okubeera n'ebiso, ennyondo n'emiggo, nga balina ne crane, okulumba abatuuze mu Kiwalimu e Naguru mu munisipaali y'e Nakawa mu Kampala, ne bagezaako okukoona ennyumba kkumi ez'abatuuze.
Kigambibwa nti ettaka lino, liriko enkaayana ne yunivaasite emu wamu n'abatuuze era nga kigambibwa nti we waavudde olutalo olwo.
Baagendedde mu ttakisi bbiri ne batandika okugezaako okukoona amayumba era nga wano abatuuze we bafumbikiririzzaako bana ne babakuba bubi nnyo, omu ku bo n'afa nga yaakatuusibwa mu ddwaaliro.
Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala, Luke Oweyesigyire , agambye nti , poliisi e Kira yakutteko bana ng'okunoonyereza bwe kugenda mu maaso.