Omuwala eyategeerekeseeko erya Cissy yattiddwa mu Mapeera Zooni e Lugala mu Munisipaali y’e Lubaga mu kiro ekyakeesezza ku Mmande nga kiteeberezebwa nti yasoose kusobezebwako. Omugenzi abadde amanyiddwa mu kitundu nga omucakaze nga nzaalwa y’e Congo.
Omulambo gwasangiddwa gusuuliddwa emabega w’ennyumba aweesudde mmita nga 100 okuva ku muzigo w’abadde apangisa.
Poliisi eriko abavubuka basatu be yakutte abagambibwa okuba mikwano gy’omugenzi nti baabalabyeeko nga batambula naye ekiro ku Ssande. Bano ye; Kevin Ssegawa, Joel Mugerwa ne Wycliffe Ssemakula ab’e Lugala.
John Mukasa, ssentebe wa LC1, yagambye nti okuttibwa kwa Cissy kuwezezza abawala basatu abazze battirwa mu kitundu kye. Yasabye poliisi eyongere obukuumi mu kitundu kino.
Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano, Luke Owoyesigyire yagambye nti abaakwatiddwa babuulirizibwako okulaba oba balina kye bamanyi ku kufa kw’omuwala ono.
ATUNDA AMAWULIRE GA BUKEDDE AGUDDE MU BATEMU
Fred Mugerwa 35, abadde yeeyita ‘Son of Jesus,’ ye yagudde mu batemu bwe yabadde annyuse ku mulimu ng’adda awaka mu kiro ekyakeesezza ku Ssande.
Mugerwa abadde mutuuze w’e Kyebando Mukitabuliki ng’abadde akola mulimu gwa kutunda mawulire ga Vision Group omuli ne Bukedde mu bitundu by’e Mulago era ng’okugwa mu batemu mu kiro ekyakeesezza Ssande, yabadde adda waka.
Omugenzi yabadde aliko gy’ava ekiro n’agwa mu kibinja ky’ababbi abaamukubye obubi. Wadde yabeesimattuddeko n’adduka okutuuka ewuwe, yafunye ebiwundu eby’amaanyi. Baamututte mu kalwaliro ng’ali bubi gye baamuggye okumwongerayo e Mulago gye yafiiridde.
Pasita Frank Kyeyune, ow’ekkanisa ya God is Life Church e Kawaala, yategeezezza nti omugenzi ng’oggyeeko omulimu gw’okutunda amawulire, abadde muyimbi wa nnyimba z’eddiini mu kkanisa eno mu kkwaaya ya ‘Life Production’.
Kyeyune yasabye poliisi n’ebitongole ebikuumaddembe okwongera amaanyi mu bikwekweto n’okulawuna kw’ekiro kubanga abantu bangi bafudde olw’abalinda eby’obwereere.
Omugenzi yaziikiddwa eggulo ku kyalo Kasokwe ekisangibwa e Bbaale mu Bugerere eggulo.
ABA BODABODA BALAAJANA
Abagoba ba bodaboda ku siteegi y’e Kyaliwajjala beeraliikirivu olw’ennyondo ezizzeemu okubakubwa abatemu ne batwala pikipiki zaabwe.
Farouk Muyinda 27, omugoba wa bodaboda ku siteegi ya Super Deal e Kyaliwajjala, ye yattiddwa oluvannyuma lw’okupangisibwa omusaabaze ku Lwokutaano ekiro eyamusabye okumutwala e Namugongo.
Edward Lukyamuzi, ng’ono naye mugoba wa bodaboda ku siteegi y’emu yagambye nti eyapangisizza Muyinda yabadde mukazi era tebazzeemu kumulaba. Oluvannyuma lw’okumunoonya nga talabika baagenze e Mulago gye baasanze omulambo gwa munnaabwe nga guli mu ggwanika.
Pikipiki nnamba UFB 419D kwe battidde Muyinda baagitutte nga yabadde ya mukwano gwe, Collin Kizza. Aba bodaboda baagambye nti mu mwezi gumu baakafiirwa bannaabwe babiri nga babakuba ennyondo ku mutwe.
Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano, Luke Owoyesigyire yategeezezza nga poliisi y’e Kira bw’ebakanye n’omuyiggo gw’abatemu bano abateega ne batta aba bodaboda nga babakuba ennyondo