PREMIUM
Amawulire

Abatalwa abantu ku Hijja ne Umrah balaajanidde Gavt. ebayambe

AB'EKIBIINA ekitwala abantu ku hijjah ne Umrah ekya Maqam Travels bawanjagidde Gavumenti eveeyo eyongere enkizo n'okusoosowaza ensonga z'eddiini kiyambeko okwongera okunyweza eddiini mu bantu.

Abatalwa abantu ku Hijja ne Umrah balaajanidde Gavt. ebayambe
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalists @NewVision

AB'EKIBIINA ekitwala abantu ku hijjah ne Umrah ekya Maqam Travels bawanjagidde Gavumenti eveeyo eyongere enkizo n'okusoosowaza ensonga z'eddiini kiyambeko okwongera okunyweza eddiini mu bantu.

Bino byogeddwa Sheikh Yasin Ssekikubo omwogezi w'ekibiina kino bwe babadde batongoza enteekateeka y'okutwala abantu ku Umrah ku ssente ensaamusaamu eyatuumiddwa Black Umrah Extra Tondeka. 

Ssekikubo ategeezezza nti mu nteekateeka eno bagenda kutwala abantu ku Umrah mu November w'omwaka guno nga olugendo lusasulibwa 4,750,000/- ng'omuntu waddembe n'okusasula mu kibanjampola okutandikira ku 1,000,000/-.

Kyokka Ssekikubo asabye Gavumenti okwongera okuwagira enteekateeka z'eddiini naddala okwongera okusasulira ba Imam olugendo luno.

Dayirekita wa Maqam Travels, Sheikh Shafik Mafo akunze abantu okukozesa omukisa guno okutuukako ku nnyumba ya Katonda kubanga omuntu atuseeyo tasigala kye kimu.

Mafo era asabye abantu bonna abalina obusobozi okuvaayo baduukirirenga abatalina kiyambeko okufunamu emikisa okuva ewa Katonda.

Akunze abantu bonna abeesobola okusasuliranga abalala olugendo lwa Umrah kubanga buli akikola abeera anywezezza eddiini n'okukuuma enkolagana n'abantu abalala.

Abdallah Mugambe ne Adam Kabali abamu ku bakoze Umrah nga batwalibwa aba Maqam Travels basiimye nnyo entekateeka eno eyabayambako okutuukiriza ekirooto kyabwe ekyokugenda ku Umrah nga bayita mu kusonda empolampola.

Tags: