ABATAKA abakulu b'ebika mu Buganda basabye bazzukkulu baabwe abalina obukugu okuvaayo okuwereeza ebika byabwe.
Omutaka Augustine Kizito Mutumba Namwama nga ye Mukubiriza w’olukiiko lw’Abataka yeyasabye bwati n’agamba nti baagala okuzimba ebika nabyo bibeeere nga bitambuzibwa ku musingi ogw’ekikugu.
“Twagala okutambuza n’okuzimba ebika byaffe ku musingi omugumu nga bwolaba kkampuni n’ebitongole ebirala. N’olwekyo bwetufuna abakugu nebajja okuwereeza ebika byaabwe,kijja kutuyamba okutuukiriza ekiruubirirwa ekyo,” Namwama bweyagambye.
Bino yabyogeredde ku mukolo ab’ekika ky’engeye kwebayanjulidde Katikkiro w’ekika omuggya n’abamyuka be mu lukiiko lw’Abataka abakulu b’Obusolya mu Buganda nga March 27,2025.
Omutaka Sheba Kakande Kasujja nga y’akulira ekika ky'engeye yeyayanjudde, Samuel Kalule Mawano nga Katikkiro omuggya,Omumyuka we asooka Ying. Steven Kirumira Gwojjolonga ate Brig.
Elly Kayanja ng’Omumyuka ow’okubiri owa Katikkiro w’ekika kyokka teyasobodde kubeerawo.
Kalule mukugu mu kubala ebitabo, Kirumira Yinginiya w’enguudo n’ebizimbe ate Kayanja,Mujaasi omutendeke.
Mu ngeri y’emu,Abataka baawabudde nti efujjo ery’eyolekedde mu kalulu akaakaggwa e Kawempe North nga bwerijja okuleetera ensi ebizibu singa linagenda mu maaso mu kalulu 2026 n’olwekyo nebasaba abatwala ebyokwerinda okusalira ebikolwa bino amagezi.
Omutaka Namwama yategezezza ng’omwaka guno Abataka bwebagenda okuteeka essira ku kusomesa abazzukkulu enteekateeka y’amaka ennungamu era nga muno mwebagenda n’okuggya omulamwa gw’omusomo gwaabwe ogwa buli mwaka,ogubeerawo buli mwezi gwa kkumi.
Kalule yeyaamye okuwereeza Obwakabaka, Kabaka, n'Olukiiko luno ate ye Ying. Kirumira yasinzidde wano neyeebaza Omutaka Kasujja olw'okumuwa obuvunanyizibwa kyokka n'akunga bazzukkulu banne okuvaayo okuwagira emirimu gy'ekika kyaabwe naddala nti Bali mukwetegekera empaka z'ebika ezinatera okutandika.