'Abasiraamu muyige okusiima abakulembeze bammwe'

OMWOGEZI w'obusiraamu mu bbendobendo lya West Buganda Sheikh Ismael Ssessimba akubirizza Abasiraamu bayige okusiima abakulembeze baabwe abaliko bye babakoledde.

Sheikh Ismael Ssessimba
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision
#Bukedde

"Abasiraamu tusasula bubi nnyo kuba ekyakolebwa ku mukadde waffe omugenzi eyali district Khadh Sheikh Uzairu Kiruuta bwe yaggyibwa mu ofiisi ng'akwatiddwa amataayi n'okumuyuliza jjubba tetusaana kubiddamu", bw'akaatirizza.

N'agattako nti omugenzi Kiruuta awummule mirembe yali abakulemberedde emyaka mingi nga Obusiraamu bw'e Masaka bulina ettuttumu kyokka mu kifo ky'okusiimibwa n'asasulwamu buswavu.

Mawuledi Khadh Sheikh Badiru Wassajja Kiruuta  (4)

Mawuledi Khadh Sheikh Badiru Wassajja Kiruuta (4)

Sheikh Ssessimba agambye nti naye asanyukidde nnyo Sheikh Badiru Wasajja ng'omusika wa Sheikh Kiruuta okulengerwa Uganda Moslem Supreme Council ne bamukwasa enkasi y'obwa Khadh wa Masaka.

Agasseeko nti emyaka gibadde gyetoloodde ng'abasiraamu be Masaka abakkiririza mu Uganda Moslem Supreme Council tebalina muzikiti mutuufu gwe basaaliramu Juma nga ne Muft bw'abakyalira bamutuuza mu bisaawe.

Mawuledi (53)

Mawuledi (53)

N'agamba nti naye Sheikh Wasajja yatandikiddewo na kubazimbira omuzikiti n'ateekawo ne ofiisi nga tebamusondeddeko wadde ekikumi kya ssente ng'abawonyezza olujejeemo lw'obutaba na maka lwe babadde babayiwako.