Balabudde ne ku bafere abayinza okweyambisa ekiseera kino ne baggya ku basiraamu ensimbi zaabwe.
Ebibiina ebiwera 54 ebitwala abalamazi nga biyita mu kibiina ekibagatta ekya Uganda Bureau of Haji affairs bategeezezza nti oyo yenna atali mu bukulembeze buno bamutwale nti mufere ayagala okubabba.
Sheikh Zakaria Kyewalyanga ssentebe w'ekibiina kino ategeezezza mu lukiiko lwa bannamawulire lwe baatuuziza ku ofiisi zaabwe ku luguudo lwa Mackay mu Kampala nti omwaka guno gwanjawulo kubanga ekkomo ku myaka liggyiddwawo.
N'omuwendo gw'abalamazi gwongezeddwako okutuuka ku 1500 okuva mu Uganda.
Kyewalyanga asabye buli Musiraamu alina enteekateeka z'okukola hija omwaka guno banguye okusasula kisobozese ababatwala okubakolera enteekateeka ennungi.
Agambye nti buli omulamazi lw'atasasula mu budde, kivaako enteekateeka embi kubanga ensangi zino buli kimu kikolebwa mu ngeri ya digito.
Basiimye n'ekya gavumenti ya kuno olw'okubayambako mu nteekateeka zino.