Omumyuka wa Katikkiro Owookusatu era omubaka omukyala mu disitulikiti y’e Mayuge, Hajati Rukia Isanga Nakadama alabudde Abasiraamu abakyalimu omuze ogw’okufumbiza abaana nga bakyali bato okugukomya kubanga bataataaganya obulamu bwabwe obw’omu maaso.
Nakadama abadde ku mukolo ng’omumyuka wa Khadhi mu disitulikiti y’e Mayuge era ow’ettwaale ly’e Magamaga: Sheikh Abdul Latifuthuman Palapande ku mukolo abamatwale abeegattira mu kibiina kyabwe nga bamugabira ebirabo ne ssente ku ssomero lya Magamaga Down primary school n’okwebaza Allah eyamusobozesezza okutuuka ku kifo kino.
Nakadama agamba nti omuze gw’Abasiraamu okufumbiza abaana abato gwakoma dda.
Nakadama agamba nti abaana abafumbizibwa nga bato bali ebitundu 50 ku 100 ate abasajja abafumbiza abaana nga bakyali bato nabo bali ebitundu 50 ku 100.Sheikh Palapande ategeezezza ng abwe balina ekizibu ky’entambula n’asaba Gavumenti nabo okubalowoozaako.
Ku mukolo guno Agrey Bagiire ku by’entambula y’omumyuka wa Khadhi awaddeyo obukadde 5 n’asasulako 2 mu buliwo ate Nakadama n’asuubiza okuwa abaamatwale bonna 18 ente.