OMUTAKA Nsamba, akulira ekika ky’e Ngabi Ssaalongo Aloysius Magandaazi akalaatidde abasika bulijjo obutatunda bya busika wabula okubigattako okukuuma omukululo gw’oyo aba avuddewo.
Bino yabyogeredde Bukomansimbi mu Town kkanso y’e Butenga mu kwabya olumbe lw’omugagga Ssaalongo Micheal Mulindwa eyasikiddwa mutabani we Alex Kasozi.
Nsamba yakubirizza abantu okwagala eby’obuwangwa byabwe n’asaba omusika okukuuma emikwano gya kitaawe ate naye okwongerako.
Ono era yasabye abantu okwewala enjawukana mu by’obufuzi wabula okusanganamu ekitiibwa n’abasaba obukuubagano bwe balina okubumalira mu bubookisi bw’obululu awatali kuyiwa musaayi.
Yakubirizza abavubuka okwewala Siriimu kyokka n’abasaba n’okufaayo okwekebeza obulwadde bwa Nnalubiri (Sikoseero) nga tebannaba kulowooza ku bya kuzaala.
Emmisa y’omukolo guno yakulembeddwamu Vicar Gen w’e Ssaza Masaka Msgr. Dominic Ssengooba eyategeezezza nti omukolo gw’obusika Klezia egussaamu ekitiibwa era tegusosola mu bantu.
Yasabye omusika okubeeramu n’ensa ng’akulembera banne mu bwerufu kyokka ng’ayambibwako enneema ya Katonda, okukuuma eby’obugagga by’omugenzi n’okubikozesa obulungi ssaako obutawoolera ggwanga.
Oluvannyuma Msgr. Ssengooba yasabidde abasika era n’abakwasa ebintu by’eddiini okwabadde ssappule, bbayibuli n’omusaalaba n’abaagaliza emikisa gya Katonda.
Okusumikira omusika kwakoleddwa Omutaka Hajji Haruna Lubega eyabakubirizza okwagala Katonda n’ekika kyabwe eky’ Engabi, yamusabye okwegendereza olulimi lw’akozesa ssaako okusala n’obwenkanya eri banne.
Omukolo guno kwabaddeko n’okussaako abasika abalala abaasobye mu bataano.
Omubaka w’ekitundu mu Palamenti, Kayemba Solo yatenderezza omugenzi Mulindwa emirimu gy’akoze okukulaakulanya ekitundu kyabwe n’okwagala eddiini wamu n’okugyagazisa abalala.