Bya Jaliat Namuwaya
Abasawo abakugu mu kujjanjaba obulwadde bwa kookolo ku Uganda Cancer institute e Mulago banjudde obujjanjabi obupya obuli ku mutindo obw'endwadde z'omusaayi.
Obujjanjabi bwe batandise nabwo mwe muli okukyusa omusaayi gw'abalwadde ba nnalubiri ( sickle cell) nga babaggyamu omusaayi omulwadde ne babateekamu omusaayi omulala .
Ekirala abalwadde abalina obutoffaali obungi mu mubiri babakenunulamu obucaafu so nga ate era bagenda kutandika n'okusimbuliza obusomyo mu nzijjanjaba eya ‘Born marrow transplant’.
Dr. Henry Ddungu omusawo eyeebuuzibwako ku ndwadde z'omusaayi ku Uganda Cancer Institute nga asinziira ku Uganda Media Center mu Kampala ategeezeza nti obujjanjabi buno bwa bwereere mu kiseera kino wabula gavumenti gye bujja egenda kuba esalawo ebisale by'obujjanjabi.
Ono alaze essuubi nti kino kyakuyamba nnyo okukendeeza ku ssente empitirivu ez'obujjanjabi abalwadde bano ze babadde baggyibwako okufuna obujjanjabi wabweru w'eggwanga.
Rita Bafumba Mulyowa nga naye mukugu mu ndwadde z'omusaayi annyonyodde nti gavumenti yamaze kugula byuma ebiri ku mutindo ddala kw’ossa n'okutendeka abasawo abagenda okuyambako okujjanjaba.
Mu ngeri yeemu abasawo bano balaze obwennyamivu olw'obulwadde bwa kookolo obweyongede ennyo mu baana nga kyenkana abaana abali eyo mu 1,000 buli mwaka bazuulibwamu obulwadde buno.