Abatuuze mu bizinga by’e Buvuma baaguddemu entiisa, abafumbo bwe baalwanaganye mu kiro okukkakkana ng’omukazi asinzizza bba amaanyi n’amutema ejjambiya ku mutwe n’amagulu n’afa nga bamuddusa mu ddwaliro.
Ekikangabwa kino kyagudde ku kyalo Bwaka mu ggombolola y’e Nairambi mu disitulikiti y’e Buvuma mu kiro ekyakeesezza ku Lwokusatu. Omukazi agambibwa okutta bba yategeerekese nga Norah Namiiro (46) sso ng’ate omusajja eyattiddwa ye Zebio Kaaya (50).
Okusinziira ku David Kasirye, ssentebe w’ekyalo Bukambe, yagambye nti Namiiro yamuyise mu kiro ssaawa nga munaana n’amutegeeza nga bwe baabadde balwanye ne bba wabula nga yamukubye bubi nnyo era nga tasuubira nti ku luno anaawona.
Kasirye yategeezezza nti Kaaya baamusanze aganngalamye mu kitaba ky’omusaayi wabula nga tannafa nga yabadde atemeddwa ekiso ku mutwe, ku kugulu ng’ebitundu ebirala gye yabadde atemeddwa olw’okuba ekiro tebaabitegedde wabula nga kumpi yenna yabadde abunye omusaayi.
Ono yannyonnyodde nti baamutadde ku pikipiki ne bamutwala mu ddwaliro lya Buvuma Health Centre IV wabula nga we baatuukidde eno abasawo ne bakabatema nti omuntu yabadde amaze okufa.
Abatuuze abalala boogedde ku mbeera z’abafumbo bano nga bagamba nti buli kiseera babadde balwanagana nga n’oluusi omusajja y’asinga okukuba bba kyokka ng’ate kyababuseeko okuba ng’ate ku luno omukazi yeegaganudde n’atuuka okutema bba n’amutta.
Bano bafumbo abawangadde okumala emyaka egisoba mu 30 nga balina abaana n’abazzukulu.
Ku makya, abakulembeze b’e Buvuma okuli amyuka RDC, Patrick Mubiru, ssentebe wa disitulikiti, Adrian Wasswa Ddungu ne DPC, Micheal Bagoole baakedde mu ddwaliro okulaba ogubadde.
Ssentebe Ddungu yategeezezza nti kyannaku okulaba nga wadde bano babadde bakuliridde mu myaka n’ebbanga lye bamaze mu bufumbo naye ng’ate babadde balwana enkya n’eggulo.
RDC Mubiru yalabudde abantu b’e Buvuma okwewala ebikolwa eby’okunywa ennyo omwnge nga tebeebalirira n’agamba nti bye biviiriddeko ebikolwa eby’obutabanguko mu maka okweyongera.
“Okusinziira ku bwe baatunnyonnyodde, Kaaya yagenze ne mukaziwe ku mwenge akawungeezi, eno gye yamulese n’addayo ewaka, ate mu kiro ne balwana okukkakkana ng’omukazi amuse,” bwe yategeezezza.
Ne DPC Bagoole naye yategeezezza nti wadde ennaku zino omulimu gwe basinga okukola kwe kutalaaga ebyalo nga basomesa abantu ku bulabe obuli mu butabanguko mu maka, beesanze nga bbyo ebikolwa eby’abafumbo okulwagana n’okwetusaako obulabe ate byongera kweyongera.
Bagoole yategeezezza nti Namiiro baamugguddeko omusango gw’obutemu ng’okunoonyereza bwe kunaaba kuwedde aggya kuba asimbibwa mu mbuga z’amateeka avunaanibwe.