ABATUUZE b’e Nyanama balaajanidde gavumenti okutereeza eby’obujjanjabi mu malwaliro gaayo, basobole okufuna okujjanjabibwa okutuufu. Okusaba kuno baakukoledde mu lusiisira lw’ebyobulamu olwategekeddwa ab’eddwaaliro
lya Wapeu Medical Center nga bakulembeddwaamu nnyiniryo, Adam Mugga mu kitundu kyabwe e Nyanama mu Soweto.
Abantu bangi bajjanjabiddwa endwadde okuli; omusujja, ssennyiga n’ekifuba, okukebera puleesa ne ssukaali, okukebera akawuka ka siriimu, ab’embuto n’okubakebera mu ka ttivvi n’endwadde endala. Abantu baategeezezza nti, balina endwadde nnyingi naye bwe batuuka mu malwaliro ga gavumenti tebafuna bujjanjabi
kuba basindikibwa wabweru okwegulira eddagala ne basaba gavumenti etereeze mu buweereza bw’amalwaliro gaayo. Teddy Nakayiza, eyakulidde abasawo mu lusiisira luno, yagambye nti, ku ndwadde ezeefuze abantu mwe muli n’eziva ku bujama , ate abaabadde n’endwadde ezaasajjuka baasindikiddwa ku ddwaaliro lyabwe bajjanjabwe ku bwereere.
Waliwo n’omulwadde eyazirikidde mu layini n’addusibwa mu ddwaaliro lye limu e Busega okuyambibwaAbajjanjabiddwa bonna baaweereddwa eddagala ly’obwereere ne babayigiriza n’engeri entuufu ey’okweyonja okwegobako endwadde ezireetebwa obujama,
okumanya endya entuufu, n’okwettanira enva endiirwa n’ebibala kuba bigoba endwadde