WABALUSEEWO okusika omuguwa wakati wa ffamire y’omuserikale SP Avito Begira ne bbulooka w’ettaka Umar Kato Bumaali ku kibanja ekisangibwa en Ndejje – Kanaaba mu ggombolola ya Makindye - Ssaabagabo mu Wakiso.
Buli ludda lulumiriza nti, ekibanja kino lwakigula ku ffamire y’emu, kyokka ku bantu ab’enjawulo. Aba ffamire ya Begira nga bakulembeddwa mukyala we Justine Kyankunda bagamba nti, ekibanja baakigula ku baana b’omugenzi Angello Ssewamala, okuli; Stephen Kato Ssewamala ne Robinah Nakibirige Ssewamala, era bano bakkiriza nti, be baatunda ettaka lino eri ffamire y’omuserikale ono. Ne Kato Bumaali agamba nti,
ekibanja kino yakigula ku Joseph Kigongo naye nga mutabani wa Ssewamala kyokka nga mu kiseera kino yafa dda!
ENTANDIKWA Y’OKUSIKA OMUGUWA
Kyakunda yagambye nti, ekibanja kino okukigula baamala kukola kunoonyereza era ne batandika okukisasula ku kibanjampola mu bulumi obungi okutandika mu 2022 okutuusa lwe baakimalayo. Endagaano gye yatulazeeko, eriko emikono gy’aba ffamire
ya Ssewamala abaasigalawo, okuli abaatunda n’abalala basatu okuli; Christine Namugga, Andrew Ssekitto ne Annet Naggayi era nga bakakasa nti, bwe baamala okugabana, Kato ne Nakibirige ne basalawo omugabo gwabwe okuguguza ffamire y’omuserikale ono. Kyakunda yannyonnyodde nti, bwe baamala okusasula ekibanja kino, Kato Bumaali ne yeesowolayo n’agamba nti, naye yagula ekibanja kye kimu mu 2013, ku mugenzi Joseph Kigongo.
Wabula ekyabeewuunyisa, y’endagaano gye yaleeta, Kyakunda gy’agamba nti, tekwali mukono gwa waaluganda yenna wadde ow’akakiiko k’ekyalo.
Amangu ago, nti, Bumaali yaleeta konteyina n’agissa ku kibanja kino, era n’akubako n’ekibaati. Begira yaddukira ku poliisi n’aggulawo omusango ku Bumaali, ku ffayiro nnamba SD:
20/10/02/2023 ng’amuvunaana okusaalimbira mu kibanja kye n’okujingirira endagaano.
Eky’okujingirira endagaano, Kyakunda agamba nti, baakizuula luvannyuma lwa poliisi y’abakugu abanoonyereza ku biwandiiko okufulumya lipooti nti, yali njingirire.
Poliisi yajja n’eggyawo konteyina ku kibanja ekikaayanirwa. Ebintu ebirala bye yali ataddewo, Kyakunda agamba nti, tebaamanya ani yabiggyawo. Waayita ennaku ntono, poliisi n’ekwata Begira, oluvannyuma lwa Bumaali okuggulawo omusango ku poliisi ng’agamba nti, Begira yabba amabaati ge 380, sseminti ne ggeeti.
Begira yasimbibwa mu kkooti, era n’asindikibwa e Luzira, wabula oluvannyuma bamweyimirira nga kati awoza ava bweru. Kyokka ekisinga okubaluma, gyo emisango Begira gye yaggula ku Bumaali okuba nga tegitambula, Kyakunda ky’agamba nti, guno mupango gwennyini ogulimu n’abamu ku baserikale, okukolagana ne Bumaali okumutulugunya.
Kato ne Nakibirige abaaguza Begira ne Kyakunda ettaka, bwe twayogeddeko nabo baagambye nti, guno gwali mugabo gwabwe, era be baaguza Begira nga bamalirivu okubalwanirira. Ye Bumaali gwe balumiriza yagambye nti, ekibanja ekyogerwako kikye bwoya era yakigula mu 2013 ku Joseph Kigongo nga tannafa.
Ayongeddeko nti, Begira agezaako kumubba, ekintu kyatagenda kukkiriza era nga mu kiseera kino yamuwawaabira gwa kumubbira mabaati, sseminti ne ggeeti nga guli mu kkooti e Makindye.
Ye Ssentebe w’e Kanaaba, Daniel Kakooza yagambye nti, ensonga zino zaabuuka dda ofiisi ye nga mu kiseera kino ziri mu kkooti era nga tasobola kubaako ky’azoogerako