Abantu be Bulambuli basanyukidde ekya Pulezidenti Museveni okuddamu okwesimbawo

BANNAKIBIINA kya NRM mu disitulikiti y’e Bulambuli bassanyukidde ekya Pulezidenti Museveni okukkiriza okusaba kwabwe okuddamu okwesimbawo ku bwa Pulezidenti ng’abakwatidde kaadi y’ekibiina kyabwe.   

Akulira office ya Ssentebe wa NRM Hadijah Namyalo ng'ayogera
By Joseph Mutebi
Journalists @New Vision

BANNAKIBIINA kya NRM mu disitulikiti y’e Bulambuli bassanyukidde ekya Pulezidenti Museveni okukkiriza okusaba kwabwe okuddamu okwesimbawo ku bwa Pulezidenti ng’abakwatidde kaadi y’ekibiina kyabwe.

Nnamungu wa bantu nga bazze okukima ebintu bya Namyalo

Nnamungu wa bantu nga bazze okukima ebintu bya Namyalo

Ku Ssande enkuumi ne nkuumi z’abatuuze mu disitulikito y’e Bulambuli bakedde ku kisaawe kya Simu P/ S e Bulambuli okwaniriza akulira offiisi ya ssentebe wa NRM Hajjat Hadijah Namyalo eyabadde abatwalidde ebintu by’okweggya mu bwavu eby’enjawulo okuva ewa Pulezidenti Museveni.

“Namyalo weebale kukulembeeramu kampeeyini za kukomyawo Pulezidenti Museveni nakkiriza okwesimbawo ku bwa Pulezidenti bwewakulembeeramu engombo ya “Omalako Jajja Tova Ku Main” bannayuganda ffenna abaagala emirembe gye twawagira kyokka nga tetumaanyi nti anatuwuliriza kyokka twafudde essanyu ng’awuliriza omulala nga gwaffe.

Nnamungi w'omuntu

Nnamungi w'omuntu

Namyalo yagambye nti omulimu gwange nagumaze ogw’okwegayiriira Jajja w’abazzukulu, ssentebe wa NRM  era Pulezidenti w’e ggwanga okumusaba nakkiriza nakomawo okwesimbawo amalirize bannayuganda bye bamubanja kati ekisigadde ye mwe abantu baffe ab’e Bulambuli okumulaga omukwano nga mu muyiira akalulu akasukkiridde mu kulonda kwa 2026 nga mugattako n’okulonda ababaka ba palamenti nga ba NRM asobole okubatuusaako obulungi obuweereza bwe muyaayanira.

Nnamungi w'omuntu azze okufuna ku bintu bya Namyalo

Nnamungi w'omuntu azze okufuna ku bintu bya Namyalo

“Pulezidenti ettu lyamwe ndibaletere kyokka n’omubaka wamwe owa Elgon County, Mudimi Ignatius Wamukuyu ng’ali wamu ne  Sarah Nambozo Wekomba ayagala eky’omubaka omukyala owa disitulikiti y’e Bulambuli mu 2026  nabo ne basalawo okwongera ku bintu Pulezidenti byeyabagulidde era ye nsonga lwaki mubiraba nga bingi ddala buli omu agenda kuva wano nga alina entandikwa” Namyalo bweyaegezezza.

Omubaka wa Pulezidenti mu disitulikiti eno,  Hajjat Faheera Bbosa Mpalanyi, yalabudde abafunye ebintu bya Pulezidenti Hajjat Namyalo byabaletedde gattako ebiguliddwa ababaka baamwe okubikozesa obulungi babiganyulwemu musobole okuva mu bwavu mu kifo ky’okubitunda okugenda okuwasamu abakazi oba okufuna ssente z’okunywamu omwenge .