ABASAWO bennyamivu olw’abantu abatayagala kwekebeza ndwadde nga bukyali ekiziviirako okusajjuka nga tezifunye mangu bujanjabi.
Bino byogeddwa Musawo Rainah Ruth Namutebi omusawo ku ddwaliro lya Kiswa Health Centre bw’abadde yetabye mu lusiisira lw’ebyobulamu olwategekeddwa aba Rotary Club of Bugolobi mu butale okuli Kitintale ne Bugolobi okubakebera endwadde ezitasiigibwa.

Okwekebejja endwadde omuli sukaali ne puleesa
Namutebi ategeezezza nti baasazewo okukebera endwadde zino okuli Puleesa ne Sukaali kubanga bakizudde nga abantu abamu bawangaala nazo nga tebamanyi ne bagenda okuzitegeera nga obudde bugenze nga tezikyasobola kukakkanyizibwa ekibaviirako okufirwa obulamu.
Kyokka yenyamidde olw’abamu ku bantu naddala abaami obutafaayo kwekebeza nga bukyali so nga ate singa baali bekebeza endwadde zino ziba zisobola okujanjabwa nga tezinatuusa bulabe bwonna ku muntu.
Kyokka anokoddeyo ebimu ku bireeta endwadde zino nga kiva ku bantu obutafaayo kukola duyiro kw’ossa n’okumala galya nga tetufuddeyo nga kino kikosa omubiri netufuna endwadde zino.

Okukebera endwadde
Asabye abantu okufaayo ennyo ku bulamu bwabwe kubanga omubiri omulamu gwegusobola okukola n’okutuuka ku birooto byaffe.
Amyuka Pulezidenti wa Rotary Club of Bugolobi Dr. Benson Okech ategezezza nga bwebakizudde nga abantu batawanyizibwqa endwadde zino kwekusalawo okubakebeza ku bwereere bamanye bwebayimiridde.
Asabye abantu bulijjo okujjumbiranga ensiisira zino basobole okutereeza embeera z’obulmu bwabwe.

Abantu babakebera endwadde ez'enjawulo
Awanjagidde ab’ekitongole ky’ebyobulamu okufuba okuzza obujanjabi mu bantu kubanga besanga nga abamu tebaagala kugenda mu malwaliro ate nga balina endwadde ezibatawanya.
Masitulah Mubiru om uku bakebeddwa endwadde zino asiimye nnyo aba Rotary okubawa obujanjabi ku bwereere era nga balina essuubi nti obulamu bwabwe bujja kutereera.