Amawulire

Abantu 8 abagambibwa okuba mu kibinja ky'ababbi ba booda booda, bakwatiddwa poliisi e Mpigi.

Abantu 8 abagambibwa okuba mu kibinja ky'ababbi ba booda booda, bakwatiddwa poliisi e Mpigi. 

Number Plates
By: Godfrey Kigobero, Journalist @New Vision

Abantu 8 abagambibwa okuba mu kibinja ky'ababbi ba booda booda, bakwatiddwa poliisi e Mpigi. 

Kidiridde ababbi okubba pikipiki nnamba UMA 594BT okuva ku mutuuze w'e Nalya Nansese mu muluka gw'e Lugyo mu Ggombolola y'e Muduuma e Mpigi. 

Abagambibwa okuba ababbi, babakwatidde mu kikwekweto ekikoleddwa e Kikaaya mu muluka gw'e Ssumbwe e Wakiso era pikipiki eno nnamba UAM 594BT ezuuliddwa n'abantu bano wamu ne pikipiki endala 3 ezigambibwa okuba enzibe okuli nnamba UEW 155H, UEK 013F ne UER 546H nga zonna bajaaj boxer. 

Kitegeezeddwa nti omu ku bakwatiddwa Ashim Bukenya omwoki w'ebyuma nti bamusanze agezaako okujja ennamba ku pikipiki asseeko endala. 

Abalala abalwatiddwa, kuliko Denis Mutebi, Tonny Sennono makanika, Salim Katongole muzimbi, Brian Muteesaasira makanika, Alex Wampande atunda byuma bikadde , Farick Kiweewa makanika, ne Sulaiman Lukenge avuga boda.

Omwogezi wa poliisi mu Kampala , Recheal Kawala, agambye nti okubuuliriza, kugenda mu maaso. 

Tags: