ABANTU babiri bafudde ate abalala Mwenda ne balumizibwa mu kabenje akagudde ku luguudo oluva e Kasagama okudda e Lyantonde

ABANTU babiri bafudde ate abalala Mwenda ne balumizibwa mu kabenje akagudde ku luguudo oluva e Kasagama okudda e Lyantonde ku makya galeero.

Ekimotoka ki wetiiye ng akiggyawo emmotoka ekoze akabenje
By Godfrey Kigobero
Journalists @New Vision

ABANTU babiri bafudde ate abalala Mwenda ne balumizibwa mu kabenje akagudde ku luguudo oluva e Kasagama okudda e Lyantonde ku makya galeero.

Omu ku bafudde abadde mu myaka 20 wamu n'omwana ow'emyaka 9 Jonathan Akampulira  mmotoka ekika kya Wish nnamba UBL 582 B mwe babadde batambulira ng'evugibwa Juliet Ashaba , bw'egudde ne yefuula emirundi egiwerako.

Abalumiziddwa kuliko Rose Mwahnale 72 ,Rossete Natukunda 35, Banard Muhame 42, Irumba Kato Damiano 36, Vicent Tumwesigye 30, Judith Kyomugisha 34, Daniel Byaruhanga 45, Kenneth Babiha 26, ne Resty Nabasa 24.

Omwogezi wa poliisi e Masaka, Twaha Kasirye, ategeezezza nti dereeva yaaliba ng'avugisizza kimama bw'abadde agezaako okuyisa emmotoka endala ku kyalo Malyansimbi nti kwe kusisinkana pikipiki ya boda boda nti bw'egezezzaako okugisala, mmotoka n'emulemerera ne yefuula emirundi egiwerako n'etta n'okulumya abalala.