Ababbye ewa Nsikonnene obukadde 50 n’amayembe babakutte

ENJOGERA egamba nti ojja kubonaabona ng’eyabba endeku mu ssabo etuukidde butereevu ku basajjabakulu basatu abaamenya essabo lya Habib Nsikonnene eyawasaabakazi musanvu omulundi  gumu ne babbamu amayembe ne ssente, kkooti bw’ebakalize beebake mu kkomera emyaka esatu.

Ababbye ewa Nsikonnene obukadde 50 n’amayembe babakutte
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

ENJOGERA egamba nti ojja kubonaabona ng’eyabba endeku mu ssabo etuukidde butereevu ku basajjabakulu basatu abaamenya essabo lya Habib Nsikonnene eyawasa
abakazi musanvu omulundi  gumu ne babbamu amayembe ne ssente, kkooti bw’ebakalize beebake mu kkomera emyaka esatu.
Kuno bwe kutaba kubonaabona nga ki? Gwe babbye yeewaana nti amaanyi ge gaalondodde Vincent  Golooba, Zakayo Oloka ne Musa Muwanga abatuuze b’e Namasengere Cell e Nakifuma-Naggalama Town Council mu Disitulikiti y’e Mukono, abaamubbye.
Abasatu bano baatunda omwoyo nga enkoko emira ensanafu  ne beesogga essabo ly’omusawo w’ekkinansi ne banyangamu obukadde bwa ssente 50 n’amayembe ge ne baggyayo enjogera egamba nti enkuyege tetya ssabo.....  Bano okusibwa, kiddiridde
okukkiriza nti nga May 31, 2025  mu maka ga Habib Ssezigu amanyiddwa nga Nsikonnene, baamenya essabo lye ne babbamu obukadde 50, eng’oma ssatu,
amasuuka mukaaga, ensuwa ssatu n’amayembe era omulamuzi wa kkooti ento e Nakifuma, Peter Gukiina n’abasindika ku meere. Oludda oluwaabi olwakulembeddwa
 Rachael Nabwire  lwaleese obujulizi bwonna obuluma basajjabakulu bano era omulamuzi Gukiina kwe yasinzidde okubasiba.
Bwe yabadde awa ensala ye
mu kkooti eyabadde ekubyeko  obugule, Omulamuzi Gukiina yategeezezza nti,  yamatiziddwa bulungi oludda oluwaabi n’obujulizi bwe lwaleese nti Nsikonnene  yanyagibwa kubanga n’amayembe  agabbibwa gaazulibwa poliisi era ne gasangibwa mu maka g’omu ku bawawaabirwa.  “Abanyazi kino baakikola mu kiro ng’omuwaabi takimanyiiko mwe baatwalira ssente kw’ossa ebyobuwangwa ebirala ekitegeeza nti kyali kigenderere okumulumya n’okutwala ebintu bye mu ngeri y’olukujukujju,  noolwekyo, mbasibye mu kkomera emyaka esatu n’emyezi munaana mubonerere ku bikolwa byammwe,”
Bino byabadde bigambo bya mulamuzi ng’abasalira. Kino omulamuzi yabadde akikola mu lujjudde lw’eng’anda z’abawawaabirwa abaalabise nga abatamatidde na kisaliddwaawo kyokka olwagudde mu matu ga Oloka ne munne, entuuyo baatandise kuzisaza bibatu olw’engeri gye zaabadde zibattulukuka ng’abaazannye ogwa Uganda ne South Africa eddakiika 90 e Namboole.
Nga bwe bagamba nti, Amaziga g’ente lye ssanyu lya Malembo, ate Nsikonnene bano okusibwayafunye kamwenyumwenyu ku matama era n’awaga nti ‘kyekyo’
nfunye ku buweerero.
Ono ate mu ngeri y’okwekubagiza, yategeezezza nti okuva bino lwe byabaawo,  afiiriziddwa kinene mu mulimu gwe ogw’okusawula kuba kyaleetera okucankalanya kw’empewo ze oluvannyuma lw’okubbibwa kw’amayembe ge mu ssabo.
Musa Muwanga ye yali yakkiriza dda n’atayonoona biseera bya kkooti era ekibonerezo kye kya mwaka. Kya kukola mu kkomera oluvannyuma lw’okusingisibwa emisango ebiri mu kiseera nga beewozaako.
Gukiina yabawadde amagezi nti atamatidde na nsala ye wa ddembe okujulira mu Kkooti Enkulu. Kkooti, ababiri bano, Golooba ne Oloka, yabalagidde buli omu okuliwa obukadde 35 okusasulira ebyasaasanyizibwa mu musango omugatte gwa bukadde 70. “Tetumatidde na nsala ya kkooti era ssaawa yonna tugenda mu Kkooti Nkulu tusseeyo okujulira kwaffe.” Mbamba, kitaawe wa Golooba bwe yategeezezza.
NSIKONENE AWERA
Wadde nga Nsikonnene yawangudde omusango gw’okumubba obukadde 50 n’ebintu ebirala mu kkooti e Nakifuma, yagambye nti akooye ejjoogo ly’abantu nga kati guno mulundi gwakubiri nga bamunyaga obutitimbe bw’ensimbi. Yagambye nti omuntu  enna
anaddamu okumubba agenda kumwekangavvulira ng’akozesa amaanyi g’emisambwa
 gy’asamirira.
“Omulundi ogwasooka ababbi nga bantu ba ku kyalo baamenya enju ne banziba obukadde 80 mu 2022 era saayogera wabula olutalo nalwana lwa kasirise okukkkakkana nga abamu ku banziba abaali abagezi  embeera yabakaluubirira  ne bajja banneetondera era ne mbasonyiwa, embeera yaabwe n’etereera,” Nsikonnene bwe yeewaanye
ng’amba nti kino yakikola mu kasirise nga tewali akimanyi okuggyako abo bokka be kyatuukako.
Yannyonnyodde nti ku luno bwe baamubbye yasazeewo agende mu mbuga z’amateeka era nga yakozesezza amakubo gonna omuli okuleeta embwa ya poliisi ekonga olusu eyagenda ew’omu ku baamunyaga ne bazuulayo ebimu ku bintu ebibbe wabula nga zzo ssente tezaasangibwayo.
OMU KU BANZIBA YEEROOPA
Ekyamuyambyeko okufuna obujulizi obwamuyambye okusinga omusango. “Omu ku banziba ku luno, Musa Muwanga, yeereeta yekka ewange n’ategeeza nti yaliko
ku bantu abaamenya amasabo gange ne babbamu ebintu.
Abatuuze baali baagala okutwalira amateeka mu ngalo bamumize omusu ne mbeegayirira baleme kukikola ne mbategeeza nga  bwe ng’enda okukwata ekkubo ly’amateeka,” Nsikonnene bwe yategeezezza.
Yagambye nti omu ku babbi ayitibwa Ggolooba, munne bwe bakola omulimu gwe gumu
ogw’okusawula nti alowooza bw’amubbako amayembe ge naye ajja kufuna amaanyi asobole okufuuka omusawo omunene. Nsikonnene yategeezezza kkooti nga ensimbi ze baamubba bwe yali azifunye oluvannyuma w’okutunda ettaka lye n’emu ku mmotoka ze era n’atwala n’endagaano ze yatundirako mu kkooti era kwe yasinzidde okusingisa
abawawabirwa omusango.
Kyokka abatunuulizi bagamba nti Nsikonnenne yandiba nga yali mu mupango, ab’amayembe gwe batera okuzannya nga balaga nti abaababbye beekomezzaawo.
Naddala bwe kiri nti omu ku bakwate yali musajjawe bwe baludde nga basawula. Wabula eky’okubatwalira ddala mu kkooti
kye kyongera okubuzaabuza, wadde ng’abantu abamu bagamba nti ababiri abaasibiddwa bayinza okuba ng’omupango tebaaguliimu.