Abantu abatannamanyika, basse omuwala agambibwa okubeera Nnekoleragyange, ne bazinga omulambo gwe mu ttundubaali ne bagusuula mu mwala ku luguudo oludda e Buddo.
Ettemu likoleddwa ku muwala amanyiddwa nga Sylivia Racheal ow'emyaka 20 omutuuze we Ibanda ng'abadde akolera mu bbaala ya Mugisha e Kasenge ku lw'e Nakawuka.
Bibadde Kasenge mu Kyengera town Council e Wakiso, bwe basse omuwala ono ne bamusuula mu mwala nga kiroowozebwa nti y'aliba nga baamutidde mu bbaala eyo.
Omwogezi wa poliisi mu Kampala, Recheal Kawala, agambye nti bakutte omukuumi w'ebbaala ne bannekoleragyange basatu okuyambako mu kunoonyereza.