OMUNTU omu afiiridde mu kabenje akagudde e Kigulu ku luguudo oluva e Iganga okudda e Kaliro ate omulala n'afuna ebisago ebyamaanyi.
Irene Kasoga 35 omutuuze w'e Masese mu disitulikiti y'e Jinja, y'afiirdde mu kabenje , pikipiki kw'abadde atambulira namba UMA 734C Bajaj boxer bw'etomeddwa loole FUSO numba UAW 731P.
Ebidduka byombi, bibadde biva Kaliro okudda e Iganga, kyokka dereeva wa FUSO kigambibwa nti abadde anatera okutuuka awali pikipiki, n'akuba engombe, era mu kutya n'okupapa, ne bagwa mu luguudo loole n'emulinnya.
Omwogezi wa poliisi mu Busoga East , Micheal Kasadha, ategeezezza nti omuvuzi wa pikipiki atwaliddwa mu ddwaaliro ng'afunye ebisago