St. Janan SS Bombo (Luweero) – Elite Games
Lira Town College (Lira) - Mupiira ogw’abalenzi
Sacred Heart SS (Gulu) – Ball Games II
Seroma Christian HS (Mukono) – Ball Games I
Seroma Christian HS - Okuwuga
Ekibiina ekiddukanya emizannyo gyamassomero ga siniya mu ggwanga ekya USSSA kirangiridde amassomero 5 agagenda okutegeka empaka z’amassomero ga siniya ezenjawulo omwaka ogujja.
Amassomero 14 gegaali gaateekayo okusaba okutegeka empaka ezenjawulo okuli eza Elite secondary school games, National ball games I, omupiira ogwabalenzi, okuwuga ne National balls Games II.
Wabula oluvannyuma lwokwekeneenyezebwa abakugu abenjawulo St. Janan schools erisangibwa e Bombo mu district ye Luweero lyerywaweereddwa olukusa okutegeka eza Elite games ate Lira Town College mu district ye Lira neriweebwa empaka z’omupiira ogwebigere ogwabalenzi.

Abamu ku bakungu
Balls games II zaakuzanyibwa ku ssomero lya Sacred Heart e Gulu ate Ball games I n’okuwuga zaakubeera mu district ye Mukono ku ssomero lya Seroma Christian High School.
Bino byalangiriddwa president wekiina kya USSSA Justus Mugisha nga asinziira mu ttabamiruka wekibiina kya USSSA ow’omulundi ogwa 43 eyabadde mu Kampala.
Ttabamiruka yeetabiddwamu abakungu okuva mu ministry yebyenjigiriza nga bakulembeddwa omuwadiisi owenkalakkalira Dr. Kedrace Turyagenda, commissioner webyenjigiriza Rev. Canon Duncans Mugumya, omumyukawe Sammy Odong, abakulembeze bebibiina byemizannyo ebyenjawulo nabakiise okuva mu region zebyemizannyo mu gwanga.
Aba district ye Wakiso basiimiddwa olwokussa amaanyi mu kuvuganya mu mizannyo egyenjawulo ku wiikendi kiyite weekend league ekiyambye amassomero agasinga okukuuma n’okutumbuula ebitone byabavubuka mu bitundu byeggwanga ebyenjawulo.
Abakiise mu ttabamiruka ono baasabye USSSA okwongera okumyumyula mu mateeka okusobola okumalawo abacuba mu mizannyo gyamassomero. Mu kino baagala nga empaka tezinatandika buli ssomero lirambike abazanyi berigenda okukozesa basooke beekeneenyezebwe nga empaka tezinatandika.
Kati aba USSSA essira bagenda kusinga kuliteeka ku mizannyo egiri ku mitendera gyemyaka okuli U14 ne U17 zebagambye nti ziyambye okuliikiriza tiimu za Uganda ezabali wansi wemyaka egyo. Bano baabawadde ekyokulabirako ekya tiimu ya Uganda eyabali wansi wemyaka 17 eri mu mpaka za world cup nga kumpi bonna baava mu mpaka zamassomero eza USSSA.
omuwandiisi owenkalakkalira mu ministry yebyenjigiriza nebyemizannyo Dr. Kedrace Turyagenda yatenderezza abakulira amassomero mu ggwanga olwokukolera awamu okutumbuula ebyemizannyo mu massomero.
Turyagenda yeeyamye okukangula ku ddoboozi eri amassomero agagufudde omuze okwemalira mu byenjigiriza nebatawa bavubuka budde bulaga bitone byabwe.
Emizannyo gyamassomero ga siniya gyakutandika mu mwezi ogwokubiri omwaka ogujja nga gitandika na Elite Championship gikomekkerezebwe mu gwomusanvu ne Ball games II.