ABANTU babiri ababadde batambulira ku pikipiki bafiiriddewo , baasi bw'ebatomeredde e Makindye mu Kampala ku makya galeero.
Poliisi ekutte dereeva wa baasi eya kampuni ya Kasamba nnamba UAM 734H Moses Baligye ne bamuggalira ku poliisi e Katwe ng'okubuuliriza kukolebwa.
Akabenje kagudde ku luguudo lwa Mobutu e Makindye okumpi ne Makindye House, abantu babiri ababadde ku pikipiki nnamba UEA 177E, baasi bw'ebatomedde abadde agivuga n'omusaabaze agibaddeko bombi ne bafiirawo.
Omwogezi wa poliisi mu Kampala Recheal Kawala, agambye nti emirambo, gitwaliddwa mu ggwanika e Mulago, ng'okunoonyereza kugenda mu maaso