ABANTU abasoba mu 10 abagambibwa okwenyigira mu kukola efujjo n'okubba abawagizi abeetabye ku lukungaana lwa President Museveni e Bugiri mu Busoga, baakwatiddwa.
Abamu ku baakwatiddwa, kigambibwa nti beenyigidde mu kubba emijoozi, okugezaako okubba amasimu n'ebintu ebirala.
Leero, Omukulembeze, asuubirwa okukuba olukungaana e Namutumba.
Omwogezi wa poliisi mu Busoga East, Micheal Kasadha, agambye nti abamu ku baakwatiddwa, baabasanze n'ebiso era ng'okubuuliriza kugenda mu maaso