Amawulire

Abakulembeze okuva mu Makindye batuuzizza olukiiko okutema empenda z'ebyokwerinda mu bikujjuko bya sekukkulu

Abakulembeze be byalo mu gomboloola ye Makindye bakunganidde ku prayer palace e Kibuye okutema empenda ku ngeri y'okunwezaamu eby'okwerinda mu biseera by'okunoonya akalulu n'ebikujjuko ebimalako omwaka. 

Ab'ebyokweinda nga bali mu lukiiko
By: Sulaiman Mutebi, Journalists @New Vision

Abakulembeze b'ebyalo mu gomboloola ye Makindye bakunganidde ku prayer palace e Kibuye okutema empenda ku ngeri y'okunwezaamu eby'okwerinda mu biseera by'okunoonya akalulu n'ebikujjuko ebimalako omwaka.

Basabye Poliisi okwongera okuteeka camera ku luguudo lwa ring road.
Babulidde Poliisi e bifo omuli obumenyi bw'amateeka ne banokolayo n'abamu ku bantu abenyigira mu bimenya mateeka.

Aby'ebyokerinda nga bali mu lukiiko

Aby'ebyokerinda nga bali mu lukiiko

Basabye Poliisi ebayambeko ku bavubuuka ne bigyambiya abanyagulula abantu. Bagamba nti abamu ku basirikale bakolagana n'abamenyi ba mateeka ate abalala balina okulagambo olutasana mu byakwerinda. Babasabye okukomya obusosoze mu bibiina byobufuzi. 

Basabye Poliisi ye bidduka ebayambe ku bagoba ba booda booda abavuga one way ne baleta obubenje n'obulipagano ku ngundo.

Adumiira Poliisi ya Kampala South Seguya akubirizza abantu okukuma emirembe mu biseera bino eby'okunonya akalulu. Asabye abantu okwagala ensi yaabwe n'okukuma ebibira.

Ababulidde ku ngeri police ennungi byelina okukola. Abakubirizza okutegezza Poliisi e biffo n'abantu. Aduumiira Poliisi mu Kampala n'emirwano SCP Ecega Richard akubirizza abantu okukolagana ne Poliisi.

Akubirizza abesombyewo okugoberera amateeka. Abasabye abasimbyewo okuwayo pulogulamu zabwe eri poliisi. Asabye abantu okunonya sente mu ng'eri entufu. Asabye abazadde okutangira abaana okukolagana ne bibijja....

Tags: