Abantu abattibwa olw’abalala okutwalira amateeka mu ngalo omwaka oguwedde, baali 1,016 ng'ate bo abaafiira mu butabanguko mu maka baali 183.
Abaaweebwa obutwa ne bafa, baali 106, be baayokera mu bizimbe baali 30, ate abaakubwa amasasi bali 188.
Abaasaddaakibwa baali 72 , so ng'ate abaatugibwa baali 491, nga bo abaafumitibwa ebiso ne bafa baali 268.
Ekitundu kya Rwizi mwe mwasinga emisango gy'okuttibwa era nga gyali 356 ne kuddako Albertine .
Akulira b mbega ba poliisi mu ggwanga, Tom Magambo, agamba nti ku misango gino, abattibwa mu bubbi baali 713, okubbisa eryanyi baali 64 , ate abagambibwa okuba nti batta bannaabwe nabo ne babatta baali 45.
Abattibwa nga babateebereza okuloga baali 15, abaasangibwa nga bamenya amayumba baali 41 , kuno kw’ossa n'emisango emirala nga baali 1,016.