Omuvuzi wa bodaboda atwaliddwa mu ddwaaliro e Kawolo ng'ataawa, pikipiki gy'abadde avuga bw'etomedde emmotoka ebadde esala ekkubo mu Buikwe.
Akabenje kabadde kumpi ne kkanisa y’e Kikawuula mu masang’anzira e Lugazi ku luguudo oluva e Kampala okudda e Jinja.
Mmotoka nnamba UBL 565G Nissan Xtrail ng'evugibwa Margaret Winfred Nantege, ebadde eva ku ludda lwa lutikko eno ng'esala oluguudo lwa Kampala - Jinja Highway okudda e Kikawuula we bambalaganidde ne piki namba UGC 985P Bajaaj Boxer ebadde evugibwa Erick Mayanja 23 ow'e Namung’oona mu Wakiso.
Omwogezi wa poliisi mu Sezzibwa, Hellen Butoto, agambye nti owaPpiki, akubye ku luggi lw'emotoka n'agwa n'azirika.
Agasseeko nti ebidduka byombi, bitwaliddwa ku poliisi e Lugazi okwekebejjebwa ng'okunoonyereza bwe kugenda mu maaso.