POLIISI eyongedde okulabula abantu okwewala okuleka amayumba gaabwe nga tewali bukuumi nti kuba kiyinza okuwa ababbi omwagaanya okugamenya ne bababba.
Mu ngeri y'emu era, balabuddwa okubeera obulindaala nga bali mu bikujjuko ne mu masinzizo , okwewala ebikolwa eby'ekitujju.
Omwogezi wa poliisi mu Sezzibwa, Hellen Butoto, agambye nti kiba kikyamu okuleka ennyumba nga tewali azirabirira oba oluusi okulekamu abaana abato bokka.
Mu ngeri y'emu era akubirizza abeebidduka, okuvuga n'obwegendereza okwewala obubenje.